Amawulire

Taata akutte ejjambiya okugoba abaana abazzeokumubanja emigabo

Taata ajjeeyo ejjambiya okutwalaganya abaana abaamulumbye nga bamubanja emmaali ya jjajjaabwe.Taata agambye nti yabasomesa ne bafuna diguli n'olwekyo bagende bakole bave mu kulowoleza mu by'obusika.

VBob Paul Mpiima ng'atabaganya
By: Saul Wokulira, Journalist @New Vision

Taata ajjeeyo ejjambiya okutwalaganya abaana abaamulumbye nga bamubanja emmaali ya jjajjaabwe.

Taata agambye nti yabasomesa ne bafuna diguli n'olwekyo bagende bakole bave mu kulowoleza mu by'obusika.

Joseph Lukyamuzi obusungu bumukutte bw'alabye abaana nga bakulembeddwa Billy Ssempijja nga bazze okumubanja emigabo ku mmaali ya Bajjajjaabwe Christopher Kaweesa ne mukyala we Oliver Namakula.

Bano bakubidde kitaabwe omulala essimu ayitibwa Musaasizi Noah era ono olutuuse oluyombo ne lukoya buto era katono enkalu zinoonye obukongovule.

Bino bibadde Busawula mu muluka gw'e Katale e Sseguku mu disitulikiti y'e Wakiso.

Ssempijja ne banne bazaalibwa omugenzi David Kasibante era nti omugabo kitaabwe gweyafuna ku jjajjaabwe Christopher Kaweesa gwonna kitaabwe Lukyamuzi Joseph yagwezza era amogolako mpola nga bw'atunda.

Musaasizi Noah muganda wa Lukyamuzi bagasimbaganye n'amulangira obubbi era we tutuukiddeyo nga ebizimbe bimeruka nga butiko ku ttaka lino.

Lukyamuzi agambye nti abo abaana tebalina mugabo gwe bamubanja kubanga Ssempijja ne banne kitaabwe Kasibante David yabaleka bato n'abawerera ne bafuna ne diguli.

Ensonga z'abaana okubanja ebintu abaana baazitwalako ewa Minisiter Sam Mayanja ne mu ofiisi ya RDC wabula ebiragiro byonna ebyawebwa taata wabwe Lukyamuzi yabizimuula.

Lukyamuzi abakakasizza nti ekibanja yakitunda bagende beekolerere nga bakozesa obuyigirize bwe baabawa.

Baaleese Bob Paul Mpiima owa Bibanja Owners Association okubatabaganya wabula oludda lwa Lukyamuzi lwalwebalamye.

Mpiima agambye nti abaana bagenda kuggula omusango ku kitaabwe Lukyamuzi ogw'okubakwatira ejjambiya wamu n'okutunda ebintu by'omugenzi nga talina buyinza kuva ewa Administrator General.

Tags: