Aggrey Awori afudde!
Jul 05, 2021
Aggrey Awori, eyeesimbawo okuvuganya ku ntebe y'Obwapuleizdenti gye buvuddeko kyokka oluvannyuma Pulezidenti Museveni n'amulonda okubeera Minisita w'Ebyempuliziganya ne tekonolgiya afudde!

NewVision Reporter
@NewVision
Awori (82) afiiridde mu ddwaaliro ly'obwannannyini erya TMR International Hospital e Naalya oluvannyuma lw'okumala omwezi mulamba ng'atawaanyizibwa puleesa.
Mu kalulu ka 2001, akaawangulwa Museveni, Aggrey Awori naye yeesimbawo era yamalira mu kifo kyakusatu ng'addiridde Besigye mu kyokubiri.
Wabula mu 2007 Aggrey yayabulira ekibiina kye ekya UPC ne yeegatta ku NRM ekibiina ekiri mu buyinza.
Mu February 16, 2009 Museveni yawa Aggrey ekifo ky'obwaminisita wa ICT n'akibeeramu okutuusa mu May 27, 2011.
Related Articles
No Comment