Aggrey Awori aziikibwa Lwamukaaga

AGGREY AWORI  eyaliko minisita wa tekinologiya n’ebyempuliziganya agenda kuziikibwa Lwamukaaga nga July 12, 2021 mu maka ge agasangibwa e Kibimba mu disitulikiti y'e Bugiri.

Omugenzi Aggrey Awori
By Kizito Musoke
Journalists @New Vision
#Bukedde

Okusinziira ku Peter Ogutu abadde mukwano gw’omugenzi, omulambo gujja kuva mu ggwanika ku Lwomukaaga gutwalibwe butereevu awali okuziika.

Tewagenda kubeerawo mukolo gwa kukuma lumbe kutongole, wadde nga e Kibimba wajja kubeerayo okusaba okw’okumala essaawa bbiri zokka ng’okuziika tekunnatuuka.

Abakungubazi abatono abanaasobola okwetaba mu kuziika basabiddwa okugoberera amateeka g’ebyobulamu ng’okwambala masiki n’okwewa amabanga.