OKULONDA kw’abanaakwata bendera ya NRM mu kulonda ababaka b’abakadde mu Palamenti kukomezzaawo Aggrey Awori.
Awori 84, nga yaliko munna UPC lukulwe era omubaka wa Samia Bugwe ayagala kukiikirira bakadde mu buvanjuba.
Mafabi New
Awori mu lwokaano luno alimu ne;Dominic Mafwabi Gidudu, omugagga w’e Mbale ne ssentebe waLC5 e Namutumba, Hajji Saleh Kumbuga.Okulonda kwakubaawo nga October 10, nga disitulikiti ezibalonda ziri 37. Balondebwa ba bukiiko ne ku magombolola.