Kamoga aleppuka na gwa kukyusa byapa

Nov 26, 2021

BBULOOKA w'ettaka Mohammad Kamoga owa Kamoga Property Consultants ali mu kubbinkana na musango  mw'agambibwa okwezza ettaka eririko yiika ezisoba mu 200 nga bamulumiriza okukozesa olukujjukujju okukyusa ebyapa  byalyo lyonna n'abizza mu mannya ge nga tafunye lukusa kuva wa nnannyini lyo era nga taliguze. 

NewVision Reporter
@NewVision

Peter Bibangamba yabbinkana ne Kamoga mu kkooti enkulu ey’eby’ettaka ng’awakanya engeri Kamoga gye yakyusa ebyapa bye ttaka lye erisangibwa ku bbulooka 435, plot8, 19 ne 96  e Bukaaya-Ntebe mu disitulikiti y’e Wakiso.

Kigambibwa nti baali bakkaanya ku kya kwerula mpenda n’okutereza obusenze bw’abantu abaliriko. 

Omusango guno guli mu maaso g’omumyuka w’omuwandiisi wa kkooti y’eby'ettaka Simon Kintu Zirintusa. Nga November 09, 2021 kkooti yayisizza ekiragiro ku ttaka lino n’eragira Kamoga obutabaako kintu kyonna kyakolerako ng'okutunda, okukyusa ebyapa, okupunta n'ebirala okutuusa ng'omusango guwedde.

Ttaka1 (1)

Ttaka1 (1)

Omusango gulaga nti Bibangamba yawa Kamoga  obuyinza ku ttaka lye lino ategeeragane n’ab’ebibanja abali beesenza ku ttaka lye oluvannyuma abamwanjulire nga nnannyini ttaka abawe ebyapa.

Mu ndagaano eno Kamoga yalina  okusooka okwerula empenda z’ettaka lino alyoke asisinkanye Bibangamba abatuuze wabula yamusaba ebyapa asobole okusalirako omusenze omu kimuyambe okumatiza abalala abali ku ttaka kyokka Bibangamba agamba nti Kamoga yava ku ndagaano nakyusa ebyapa byonna  mu mannya ge awatali ku mwanjulira muntu yenna.

Ttakka (1)

Ttakka (1)

Bibangamba bwe yamanya nti Kamoga akyusizza ebyapa bye yasalawo okusazaamu endagaano gye baali bakoze nga May 22, 2021 era ayagala kkooti  eragire omuwandiisi w’ebyapa mu minisitule y’eby’ettaka asazeemu ebyapa byonna Kamoga bye yasalaasala mu ttaka lye n’okumuliyirira olw’ekikolwa kino. 

Mu kwewozaako, Kamoga agamba nti Bibangamba agenda okusazaamu endagaano ng’amaze okutuukiriza bye bakkaanyako era naye yamuggulako omusango mu kkooti enkulu ey’eby’ettaka ku ffayiro 516 ,2021 ogutannawulirwa.

Agamba nti Bibangamba ayagala kutwala puloti ezigwa mu bitundu 35 bye bakkaanyako ng’ate amaze okuteekamu ssente ze.  

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});