Ababadde batwala omulambo bafunye akabenje babiri ne bafa ne kkeesi y'omufu n'esensebuka
Jan 19, 2022
AKABENJE ak'amaanyi kagudde ku kyalo Nansese ekiri ku luguudo lwe Mityana ng'oyingira ekkoona lye Nswanjere, ttipa No. UBF 643K ebaddeko ab'oluganda nga bwatwala omulambo okuguziika e Mityana bweremeredde omugoba waayo okukakkana ng'eyingidde ekibira Kya Kalittunsi era babiri ne bafiirawo n'omulambo ne guva mu kkeesi ne guwandala ne kkeesi mwegubadde n'efuukla bupapajjo.

NewVision Reporter
@NewVision
AKABENJE ak'amaanyi kagudde ku kyalo Nansese ekiri ku luguudo lwe Mityana ng'oyingira ekkoona lye Nswanjere, ttipa No. UBF 643K ebaddeko ab'oluganda nga bwatwala omulambo okuguziika e Mityana bweremeredde omugoba waayo okukakkana ng'eyingidde ekibira Kya Kalittunsi era babiri ne bafiirawo n'omulambo ne guva mu kkeesi ne guwandala ne kkeesi mwegubadde n'efuukla bupapajjo.
Lam 2(2)
Mmotoka Eno ebadde Eva Rakai ng'etwala mulambo Gwa Ssalongo Saul, era basoose kugutwala mu makaage agasangibwa e Namasuba, ng'eno gye bakedde okuva okwolekera e Mityana gye babadde balina okumuziika.
Wetutuukidde mu kifo awagudde akabenje ng'omulambo gusensebukidde mu kkeesi , kwossa n'ogwomuvubuka Kibirige Timothy abadde akola ne Ssalongo, ne kwossa mutabani w'omugenzi Jovan Muganga, ng'ono afudde atwalibwa Mulago okufuna obujjanjabi.
Lam 6
Abamu Ku basimattuse akabenje kano batutegeezezza nti bannaabwe abawerera ddala 20 beebaddusiddwa mu Ddwaliro era nga tebamanyi nti banaalama, nga dereeva mu mmotoka batemyeemu muteme, n'abakyala emiti ne gibamenyamenya
Bàno Bagamba nti baavudde Rakai gye babadde bakolera n'omugenzi, ku lwokubiri yava ku mirimu ng'agamba nti ekifuba kimuluma, ng'olwamuwa ku mpeke yatandika okusesema omusaayi ne kyaddirira kwekufa. Bagamba nti e Namasuba batuseeyo ku ssaawa munaana ogwekiro ngeno gyebaasanze abengandaze, Ng bwebakedde ku nkya kwekwessa mu ddene boolekere e Mityana okumuziika.
Lam 9(1)
Bannyonyola nti dereeve abadde avuga mpola kyokka bagenze okweka ga nga mmotoka eyingidde ekibira Kya Kalittunsi, ng'ate abalala Bagamba nti kivudde ku kifo awabadde watwalibwa omulambo guziikibwe Kuba omugenzi yali tayagala kumuziika Mityana.
Mu balala abayisiddwa obubi kuliko ne nnamwandu w'omugenzi abadde attudde mu maaso, nga n'abamu ku bakungubazi ababadde bagenda okuziika balabiddwako nga batudde ebbali woluguudo wakati mu kusoberwa.
Ssentebe WA LC2 owe Muduuma nga ye Mateega Tonny ayogedde ku kabenje Kano ng'agamba nti Abantu Bangi balumiziddwa, era Bangi batwaliddwa nga bali mu mbeera mbi, ngono yeekokkodde obubenje obususse okugwa ku luguudo luno...
Oluvannyuma poliisi yabazimyamooto etuuse n'ebimotoka ebizikiriza omuliro nwamu NE kasiringi, NGA mmotoka eno esikiddwaayo netwalibwa ku poliisi ye Bujuuko, nomulambo neguggyibwayo neguteekebwa mwemu ku taxi yabakungubazi, NGA gwo ogwa Kibirige gutwaliddwa mu Gwanika e Mulago.
AbATUUZE basigadde balabula Dereeva WA takisi etutte omulambi okwegendereza kuba omulambi guno gwandiba NGA tegwagala kutwalibwa Mityana.
No Comment