Kabaka wa Saudi Arabia akubye ku matu

May 16, 2022

Omukulembeze ow'oku ntikko mu ggwanga lya Saudi Arabia, Kabaka Salman bin Abdulaziz Al Saud assuuse n'asiibulwa okuva mu ddwaliro gy'abadde amaze wiiki nnamba ng'abasawo bamwekebejja.

NewVision Reporter
@NewVision

Riyadh, Saudi Arabia

Mu bubaka obwafulumiziddwa omukutu omutongole ogw'eggwanga oguyitibwa Saudi Press Agency (SPA)  gwalaze Kabaka ono ow'emyaka  86, ng'atambula asimbaggiriza omuggo ng'afuluma eddwaliro lya King Faisal Specialist Hospital gy'abadde erisangibwa mu kibuga Jeddah nga yeebunguluddwa abakungu mu gavumenti omwabadde n'Omulangira alindiridde okulya eng'oma, Mohammed bin Salman bwe baabadde tebannamuteeka mu mmooka okumuvuga okumuzza eka.Omukutu era gwategeezezza nti Kabaka yajjanjabiddwa bulungi era abasawo ne bamwekebejja nga buli kimu kiri bulungi.Okuva mu 2015, Kabaka Salman abadde yafuuka wandwadde ng'alina endwadde z'omutima kw'ossa okumulongoosa akawago okwaliwo mu 2020. Mu kiseera kino yalonda dda mutabani we, Omulangira Mohammed bin Salman, 36, nga y'anaamusikira era olw'okuba Kabaka abadde mugonvugonvu yawa dda mutabani we ono obuyinza okumuddukanyizaako emirimu gy'Obwakabaka.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});