'Empisa y'okumanyagana nkulu nnyo mu Buganda'
Sep 05, 2022
Omwogezi w'Obwakabaka bwa Buganda Noah Kiyimba asabye abantu bulijjo okutwala empisa y'okumanyagana mu bika ng'ekintu ekikulu Bajjajja kye baalekawo.

NewVision Reporter
@NewVision
Ono abadde yeetabye mu lukiiko lw'okumanyagana ab'olunyiriri lwa Balinabe Mungi bwe babadde bakung'aanidde mu maka ga Louis Nyombi e Kiteza mu Division ya Nyendo Mukungwe mu Masaka City.
Kiyimba nga naye y'omu ku bazzukulu mu lunyiriri luno asabye abantu ba Kabaka okufaayo okujjumbira empisa y'okumanyagana kiyambeko emijiji emito okukwatagana n'okuyambagana.

Abolunyiriri lwa Mungi oluvannyuma lw'olulikiiko lw'okumanyagana e Kiteza mu Masaka City
Ono era asabye abantu okunyiikira okuweerera abaana ne bwe baba ng'omu ku bazadde sibyaliko okusobola okuba n'abaana abategeevu era abakozi abatabulwa mirimu.
Olukiiko lwetabiddwamu abantu abawerako omuli; Fr Richard Nyombi ng'ono y'omu ku ba White fathers mu kigo kya Mapeera Nabulagala , akulira ekitongole ky'ebyenkulaakulana mu ssaza ly'e Masaka ekya Caritas MADDO, Fr Raphael Semmanda n'abalala.
Related Articles
No Comment