Ndugga akubye abantu omuziki emmandwa ne zibalinnya ku mitwe nga batongoza ebbaala empya
Oct 11, 2022
OMUYIMBI w'ennyimba za kadongo kamu Hassan Ndugga Bamweyana eyayimba Mukama ntikula emiggugu akubye abantu emiziki emizimu ne gibalinnya ku mitwe.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision
Ndugga yabadde Kasenge mu Wakiso ku bbaala ya Antonio’s Pub eagguddwaawo eri abadigize mu butongole.
Yasoose kubakuba buyimba bwe obukadde okwabadde 'Mukama ntikula emiggugu, Kaguta n'endala era abantu baasoose kuzinyumirwa nga buli omu atudde mu ntebe ye amwegase amaaso.
Ono yasoose kulumba muyimbi munne Ronald Alimpa olw'obutamusiima ng'amuwonyezza okufa bwe baali bafunye akabenje omwafiira Lady Grace n'abalala bwe baali bagenda okuyimba era Ddugga n'abasuubiza Alimpa waawonera agenda kuta oluyimba luno lwe yatuumye 'Abantu tebasiima'.
Abantu abeeyiye ku bbaala ya Antonio's Pub e Kasange
Oluvannyuma Ndugga yasuddemu oluyimba lwa 'Tudde ku nnono' olwo abantu abaabadde batudde ne basituka mpolampola mu butebe bwabwe ne batandiika okubuuka nga bwe bagwa ebigwo olwo n'ava ku siteegi n'agenda nga bw'abakwatako mu ngeri ebakkakkanya era bakira bamufuuwa ssente ez'okumukumu mu ngeri emusaba emikisa.
Ono ababaddewo baatandiise okubijweteka nti nti yava mu bulokole n'adda mu busamize kuba obwedda bakira abantu abalina ebizibu ebitali bimu bajja abasabire ng'akozesa erinnya lya Jjajjaawe Bamweyana olwo abantu ne batandika okumuyiikira ne ssente naye nga ng'abakwata ku mitwe.
Ono olwavudde ku siteegi ne zireeta Ssenga Justine Nantume n'akayimba ke aka 'Muzaaleko ebweru' olwo enduulu ey'oluleekeleeke n'eddamu okusaanikira ekifo kyonna, era bakira asirisaamu okuyimba ate naddala mu kubuulirira abafumbo ku nsonga z'omukwano olwo enduulu n'evuga.
Ssenga Nantume ng'ayimba
Nnannyini bbaala Hakim Bisaso wamu ne n'omumyuka wa maneja Robert Musiitwa yeebazizza abadigize olw'obuwagizi bwe babalaze ne basaba okubanywererako kuba baleeta ebipya bingi ku kisaawe ky'ebyamasanyu.
No Comment