Ab’e Kyegegwa abeesenza ku ttaka ly’ekibira basattira

Dec 10, 2022

ABATUUZE mu muluka gw’e nKibuye ne Kabweza mu disitulikiti y’e Kyegegwa balaajana olw’abakulira ebibira okusaawa ebirime byabwe okuli: emmwaanyi, ensuku, kasooli ne ovakedo.Bagamba nti ebbanga lyonna lye babadde ku ttaka lino, bamanyi ekibira kya Rwensambya Forest Reserve we kiyita era abeebibira baasimbamu n’emiti egyawula ettaka ly’ekibira n’abatuuze kyokka beewuunyizza okulaba nga bazze okusimba ebikondo mu bibanja by’abantu nga batwaliddemu n’amaka gaabwe.

NewVision Reporter
@NewVision

ABATUUZE mu muluka gw’e nKibuye ne Kabweza mu disitulikiti y’e Kyegegwa balaajana olw’abakulira ebibira okusaawa ebirime byabwe okuli: emmwaanyi, ensuku, kasooli ne ovakedo.
Bagamba nti ebbanga lyonna lye babadde ku ttaka lino, bamanyi ekibira kya Rwensambya Forest Reserve we kiyita era abeebibira baasimbamu n’emiti egyawula ettaka ly’ekibira n’abatuuze kyokka beewuunyizza okulaba nga bazze okusimba ebikondo mu bibanja by’abantu nga batwaliddemu n’amaka gaabwe.
Omusasi waffe we yatuukidde mu kifo kino, yasanze abakozi ba NFA (National Forestry Authority) nga basima ebinnya nga bw bateekamu n’ebikondo ebiriko laama ya NFA.
Omubaka wa Kyaka Central, Tom Bright Amooti ng’ayogerako n’abatuuze be yasisinkanye, yabagumizza nti tajja kukkiriza batuuze kunyigirizibwa.
Amooti yayongeddeko nti baakutuula n’abakulira ekitongole kya NFA, RDC ne ssentebe wa disitulikiti balabe bwe bagonjoola ensonga eno.
Omukungu wa NFA, Milton Agaba eyabadde ayogeza obukambwe, yategeezezza nti baayerudde empenda oluvannyuma basobole okumanya baani abalimu kibira n’abatali. Yagambye nti abantu bangi bazze beesenza mu kibira nga n’abalala batunda ne bagenda.
Yategeezezzza nti emiti egyasimbibwa NFA mu 2008, abantu baagitema ne baggyamu enku n’okwokya amanda. Yatangaazizza nti waliwo ekibiina ‘Kabweeza Tree Growers Association’ (KTGA) kye baali bawadde omukisa okusimba ekibira kino buto kyokka ate mu kifo ky’okukola ogwabakwasibwa, badda mu kupangisa bantu ne balimamu kasooli n’ebirime ebirala. Agamba olwa kino, ekibiina kino ekyali kikulirwa Patrick Mukambe kyaggyibwako obuvunaanyizibwa ku kibira ekiriko obugazi bwa yiika 662. John Kisoke, ssentebe wa disitulikiti yakubirizza abatuuze okwewala okusenga mu kibiri.
N’agamba nti baakuleeta omupunta owaabwe ensonga zigonjoolwe.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});