Bya Eria Luyimbazi
POLIISI ng'eri wamu n'ebitongole byokwerinda ebirala erondodde abazigu abagambibwa okubeera n'akakwate ku bulumbaganyi bwa poliisi ez'enjawulo ne battako babiri wakati mu kuwanyisiganya amasasi .
Bino byabadde Matugga, mu Kito Cell poliisi ng'eyita mu kitongole kyayo ekikessi Crime Intelligence wamu ne Flying Squad bwe yalondodde akabinja k'abazigu k'erumiriza okubeera mu lukwe n'okulumba poliisi zaayo n'okutta abaserikale.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti abaserikale balondodde akabinja k'abazigu abagambibwa okubeera n'akakwaet ku bayeekera ba Allied Democratic Force ( ADF) ababadde omusanvu ne bakubako babiri amasasi agabattiddewo wabula abalala ne badduka.
Yagambye nti abakubiddwa amasasi, poliisi ebalinako obujulizi nti be bamu ku baali emabega w'okulumba poliisi y'e Busiika ssaako ne poliisi y'e Kyabadaaza ne bakuba amasasi agatta abantu babiri n'okutolosa abasibe abaali bakwatiddwa.
Yategeezezza nti abattiddwa mu kikwekweeto kino kuliko; Hakim Kajubi ne Muhanguzi nga bano baakubiddwa amasasi oluvanyuma poliisi n'ezuula emmundu bbiri, magaziini amasasi 66 ne kabbomu kamu.
EYATTA OMUKUUMI N'AMUBBAKO EMMUNDU E LUWEERO AKWATIDDWA
Enanga yagambye nti abaserikale e Luweero balinnye akagere, omuvubuka Bashir Lubega gwe bafunyeeko amawulire nti eyali emabega w'okuttta omukuumi eyali akuuma ku ka bbanka n'atwala emmundu ye.
Yagambye nti abaserikale balondodde Lubega okumala ennaku musanvu ne bamukwatira ku kyalo Lukomera ng' emmundu gye yakoseza yali yagibba ku mukuumi akolera ekitongole kya Pyramid Security oluvannyuma n'agikozesa okulumba omukuumi Leon Odong eyali akuuma ku Advance Microfinance.
Yategeezezza nti abaserikale bali mu kukunya Lubega okuzuula oba alina akakwate ku kabinja akabadde kalumba poliisi n'abakuumi k'abatta n'okutwala mmundu zaabwe .