Poliisi ekutte omuntu omu agiyambeko okunonyereza ku bulumbaganyi obw'akoleddwa ku ttka ly'e Ntaawo

Omuntu omu yaakwaatiddwa poliisi agiyambeko mu kunoonyereza ku bulumbaganyi obwakoleddwa ku ttaka ly’e Ntawo mu Mukono mu kiro 

Emmotoka eyakooneddwa
By Joanita Nakatte
Journalists @New Vision

Omuntu omu yaakwaatiddwa poliisi agiyambeko mu kunoonyereza ku bulumbaganyi obwakoleddwa ku ttaka ly’e Ntawo mu Mukono mu kiro

Akwatiddwa ye Isa Ssenyonjo omutuuze w’e Bugema Busiika era nga kigambibwa nti ono n’abalala abaasobye mu 20 bagyidde mu taxi bbiri ekik kya kamunye kwossa ne n’emotoka endala ekika kya Noah,ku saawa kumi n’emu ez’okumakya ne boolekera ku ttaka eliruddeko enkaayana ku bwa nnanyini lyo omutuufu wakati wa famire ya Ham Mukasa n’ettendekerolya UCU ne bonoona buli kibaddeko.

Omukyala ng'ali ku mmotoka eyakubiddwa endabirwamu

Omukyala ng'ali ku mmotoka eyakubiddwa endabirwamu

Bano babadde n’ebissi omubadde ennyondo, emiggo, amajambiya n’ebintu ebirala era nti olutuuse batandikiddewo okukola efujjo mwe baakoonedde enyumba ne kabuyonjo ,okwonoona pikipiki nga kwogasse n’okwaasa endabirwaamu z’emotoka ebadde epaakinze mu lujja, nga n’abadde asula mu nyumba eno asimattukidde watono okuttibwa.

Bano era beeyongeddeyo ne mu kifo ekirala ekiriraanye wano, ewali ekizimbe ekirala ekizimbibwa nakyo ne bakiwomoggola.

Abatuuze be babaguliza ku poliisi esitukiddemu okukakkanya embeera era ng’ewaliriziddwa n’okukuba amasasi musanvu mu bbanga  okuzza embeera mu nteeko olwo ababadde baleeteddwa okukola efujjo ne babuna emiwabo.

Emmotoka eyakooneddwa

Emmotoka eyakooneddwa

Mu kavuvungano kano Ssenyonjo akwatiddwa n’atwalibbwa ku poliisi era nga bw’abuuziddwa akana n’akataano kw’ani ali emabega w’okubaleeta, ategeezezza poliisi nti omusajja eyategeerekseeko erya Robert y’baleese okukola omulimu.

Ritah Catherine Kalyoowa omukulembeze mu kitundu kino asabye minisitule evunaanyizibwa ku nsonga z’ettaka okusitukiramu okugonjoola obuzibu ng’obudde bukyaali olw’okutya kwe balina ng’abakulembeze nti abantu bandifiira ku ttaka lino olw’entalo n’okulwanagana okususse.