Bya Eria Luyimbazi
POLIISI eyongedde ebikwekweto mu Kampala mu kaweefube gw’eriko ow’okulwanyisa obumenyi bw’amateeka n’ekwata abantu 70.
Abaserikale okuva ku poliisi ya CPS nga bali wamu n’abamagye baagenze mu bitundu eby’enjawulo mu kibuga wakati ne bakwata abateeberezebwa okwenyigira mu bikolwa ebimenya amateeka.
Mu kukola ekikwekweto kino abaserikale beegabanyizzaamu ebiwayi 4 ng’ekimu kyagenze ku Nkurumah Road, ekirala kyakutte ku Arua Park, ekirala ne kigenda ku Cooper Complex ne Nakivubo ate ekirala ne kigenda e Nakasero.
Abaserikale baagenze mu bifo ebyenjawulo awagambibwa okutundibwa amasimu agabbiddwa ku bantu, ne mu mwala gwa Nakivubo nga poliisi erumiriza nti abamu ku babba abantu gye baddukira ne beekweka.
Akulira ebikwekweto ku poliisi ya CPS, David Nahamya yagambye nti mu kiseera ng’abantu bali mu keetalo ka Ssekukkulu n’abamenyi b’amateeka babeera mu kwetala nga basala ensawo, okwefuula ebeetissi b’emigugu n’abafere n’ekigendererwa ky’okunyaga abantu be balowooza nti balina ssente.
Yagambye nti mu bikwekweto ebizze bikolebwa abamu ku bamenyi b’amateeka ab’olulango naddala abasala ensawo poliisi yabakutte ne batwalibwa mu kkooti era bajja kwongera okubawenja.