Bya Eria Luyimbazi
OMUGOBA wa boodabooda eyagenze okugula essimu akiguddeko bwe bamufeze emitwalo 28 ne bamuwaamu ekintu ekyefaananyiriza essimu.
George William Muwanga ye yafereddwa ku Lwokubiri, abavubuka be yasanze ku kizimbe kya Mutaasa Kafeero mu Kampala.
Yabadde atambula n’agwa ku bavubuka bano abaamusuubizza okumufunira essimu y’ekika kya Canon 17 gye yabadde anoonya ne bamutegeeza nga bwe balina edduuka ku kizimbe kya KK Trust ku Namirembe Road.
Yagambye nti baamulaze essimu ez’enjawulo n’abaako gy’asiima n’asasula kyokka yagenze okwetegereza nga bamuwadde ekintu ekyefanaanyiriza essimu.
Amyuka Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire yasabye abantu okwengendereza ababaguza ebintu kuba abamu babeera n’ebigendererwa by'okubaggyako ssente ne batabawa kye baagala.