Maaama Sylvia Nagginda alambudde abaana abali mu kisakaate

Jan 11, 2023

NNAABAGEREKA Sylvia Nagginda alambudde abaana abali mu Kisaakaate ky'omwaka guno ekiri ku Muzza High School e Kabembe-Mukono n'atendereza emisomo gyebaweebwa gyagambye nti gyakwongera okubafuula abatuuze ab'obuvunanyizibwa mu ggwanga."Tulina ebintu byebakola nga Bali wabweru ng'emizannyo.Mu bibiina basoma ebikwata ku buwangwa bwaabwe,Oluganda,okwefaako,empisa,okwerabirira ate n'okwewala emizze egyonoona abavubuka ng'okukozesa ebiragalalagala," Nnaabagereka bwayogedde.

NewVision Reporter
@NewVision

NNAABAGEREKA Slyvia Nagginda alambudde abaana abali mu Kisaakaate ky'omwaka guno ekiri ku Muzza High School e Kabembe-Mukono n'atendereza emisomo gyebaweebwa gyagambye nti gyakwongera okubafuula abatuuze ab'obuvunanyizibwa mu ggwanga.

Maama Nnaabagereka ng'aggulawo ekisulo ky'abaana abawala ekiweereddwa erinnya lye

Maama Nnaabagereka ng'aggulawo ekisulo ky'abaana abawala ekiweereddwa erinnya lye

"Tulina ebintu byebakola nga Bali wabweru ng'emizannyo.
Mu bibiina basoma ebikwata ku buwangwa bwaabwe,Oluganda,okwefaako,empisa,okwerabirira ate n'okwewala emizze egyonoona abavubuka ng'okukozesa ebiragalalagala," Nnaabagereka bwayogedde.

Omusomo ku biragalalagala gwasomeseddwa ab'ekitongole ekivunanyizibwa ku ddagala mu ggwanga ki National Drug Authority abaakikiriddwa Fred Kabuye eyasabye abazadde bulijjo okuwulirizanga abaana okubabulira kweebyo byebayitamu mu bulamu lwebasobola okuzuula emizze ng'ebiragalalagala.

Maama wa Buganda ono okulambula 
akutandikidde mu kulambula ekifo ekirimu ebikwata ku Bwakabaka bwa Buganda nga kikulirwa omugunjuzi Kojja Sadam Ssebuyira eyamwanjulidde abato Raudah Nansimbe ne Ssanyu Ttendo nga yalagiddwa ebintu eby'enjawulo.

Abasaakaate nga basomesebwa okusiba emmere

Abasaakaate nga basomesebwa okusiba emmere


Nnaabagereka yeebazizza ba Kojja ne Bassenga abakulirwa Ssabagunjuzi Rashid Lukwago ne Nnabagunjuzi Joanita Kawalya olw'okugunjula abaana kubanga Si buli omu nti asobola okubeera Kojja oba Ssenga wabula balonda abantu abo bebalowooza nti bajja kuteekateeka bulungi abaana b'eggwanga.
Omukungu Ssaalongo Mukiibi Muzzanganda nga ye mutandisi w'essomero lino yebazizza Nnaabagereka olwokubateekamu obwesige okutegeka ekisaakaate kino ate n'okubaggulirawo ekisulo ekyabuddwa mu linnya lye ki Nagginda Girls' Dormitory ate n'okubasimbira omuti ogw'ekijjukizo.
Muzzanganda agambye nti ebintu bingi ebitekeddwa mu kifo kino okubangula abasaakaate ekifudde eky'omulundi guno eky'enjawulo okuli okuwaata, okuluka ebitambaala,okulunda enkoko,obumyu saako n'emizannyo okuli omuppya oguyitibwa Teqball.

Maama Nnabagereka ng'asimba omuti ku ssomero lya Muza high Schoolo awali ekisakaate ky'omwaka guno

Maama Nnabagereka ng'asimba omuti ku ssomero lya Muza high Schoolo awali ekisakaate ky'omwaka guno

Ekisaakaate ky'omulundi guno kyatandise nga January 5,2023 wansi w'omulamwa ogugamba nti "Okutukkiza obusobozi obukusike ku lw'okwekulakulanya" era kyakukkomekerezebwa nga January 21,2023.

Christine Nantongo nga ye nnyina wa Muzzanganda agguddewo ekizimbe kya dayiningi- abayizi mwebanaliranga emmere.
Omukolo gwetabiddwako Omumyuka wa Ssentebe w'Olukiiko olufuga Muzza High school,Lydia Lukwago,Omutaka Namutwe,Omukulu we ssomero Annet Harriet Tusiime n'abakungu ku lukiiko olukulembera Nnabagereka Development Foundation nga bakulembeddwa Dr. Jeff Ssebuyira,Ssentebe waabwe.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});