Abagambibwa okutta Naggirinya basabye obujulizi bwa poliisi
Jan 17, 2023
ABATEMU abagambibwa okutta Maria Naggirinya basabye kkooti enkulu ebaweobujulizi bwonna poliisi bwe yaakungaanya bw'esuubira okukozesa okubalumiriza,babuyitemu basobole okwetegekera omusango ogubavunaanibwa.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Benjamin Ssemwanga
EKIBIINA kya Forum for Democratic Change (FDC) kisekeredde aba NUP okulowooza nti okutwala omuvubuka Habib Buwembo ne banne kigenda kunafuya
emirimu gy'ekibiina ne kikkaatirizza nti kino ssi kyakukosa kibiina yadde okukiyuuyaamu.
Ibrahim Ssemujju Nganda, omwogezi wa FDC bwe nyabadde mu lukungaana lwa bannamawulire ku kitebe ky'ekibiina e Najjanankumbi eggulo yagambye nti ekibiina
okuva lwe kyatandika kirina bannabyabufuzi be kireze abamaanyi abamu nga bakyabulira naye ekibiina ne kisigala nga kiddukanya emirimu gyakyo era ne kisigala nga kyamaanyi.
Yagambye nti okuvaawo kwa Habib Buwembo tekirina kye kigenda kukosa mirimu
gya kibiina yadde okutaataaganya enteekateeka yonna.
Habib Buwembo ne banne abalala 40, baalekulidde FDC ne beegatta ku NUP ng'ono
y'abadde avunaanyizibwa ku nsonga z'abakozi n'ekikula ky'abantu mu kibiina kino
nga bakikkaatiriza nti FDC terina nteekateeka nnuhhaamu ekwata obuyinza
bw'eggwanga.
Nganda yayogedde ne ku mbalirira y'omwaka gw'ebyensimbi ogujja ogutandika
mu July 2023 n'agamba nti mujjuddemu okusasula amabanja Uganda ge yeewola
okuddukanya emirimu.
Yagambye nti Uganda yeewola ssente nnyingi okwebeezaawo ate ne zitakola
kye zirina kukola ne weesanga ng'emirimu gizihhamye olw'ebbula lya ssente.
Yagambye nti gavumenti erina okukendeeza ku bintu by'esaasaanyizaako ssente mu
bitongole ebyenjawulo nga muno mulimu n'okukendeeza ku bakozi mu bitongole bya
gavumenti ng'enkola eno ejja kuyamba okutereka ssente ezisobola okukola ku pulojekiti
ez'enjawulo mu ggwanga.
Ssente nnyingi ezeewoleddwa nga zikozesebwa mu kwejalabye na kusasula abakozi mu gavumenti abamu abatasaanidde kusasulwa nga zino zandibadde ziddukanya emirimu
egy'enjawulo mu ggwanga.
No Comment