Avunaanibwa ogw'okutta Nagirinnya agaanyi kkooti okumussa mu Newvision n'asaba bamusse mu mawulire gona agali mu Uganda

Jun 12, 2023

OMUSIBE Copoliyamu Kasolo avunaanibwa okutta omuky. Maria Naggirinya yewunyisizza omulamuzi bwagaanye obuyambi bwa kkooti okumuteekera ekirango mawulire ng'ayita abajulizi be.     

NewVision Reporter
@NewVision
OMUSIBE Copoliyamu Kasolo avunaanibwa okutta omuky. Maria Naggirinya yewunyisizza omulamuzi bwagaanye obuyambi bwa kkooti okumuteekera ekirango mawulire ng'ayita abajulizi be.
 
Kasolo ategeezezza omulamuzi Isaac Muwata nti omuwandiisi wa kkooti Festo Nsenga yamugambye nti bagenda muteera ekirango mu mawulire ga Newvison nga bayita abajulizi be bajje bawe obujulizi ku lulwe naye kino yakigaanye kubanga ye ayagala ekirango kiteekebwa mu mawulire gonna.
 
Kasolo agambye nti abamu ku bajulizi be tebamanyi kusoma luzungu nga ekirango bwekiba muluzungu tekikya kubatuukako era abeera tagenda kufuna bwenkanya.
 
Kasolo yasooka nasaba kkooti emuwe ssente obukadde 50 ateeke ekirango mawulire g'empapula gonna, ttivvi, leediyo n'emikutu gya soso meediya ng'ayita abajulizi be bajje bamuwolereze.
 
Yategeeza nti mikwano gye bayagala bajje bamuwolereze yasemba okubalaba mu 2019 nga tanakwatibwa era tamanyi nnamba zabwe yadde gyebabeera y'ensonga lwaki kyetagiisa okukozesa amawulire gonna okubayita.
 
Omulamuzi Muwata yagaana okumuwa ssente wabula nalagira agende ayogere n'omuwandisi wa kkooti bafune engeri gyebamuyambamu kyokka era agaanye obuyambi bwabwe olw'okuba ekirango babadde bagala kukiteeka mu lupapula lwa Newvison.
 
Kati Kasolo alinawo omujulizi omu yekka nga yemusibe munne Johnson Lubega era mu ngeri y'emu Kasolo agenda kubeera mujulizi wa Lubega.
 
Kasolo avunaanibwa nebanne okuli Lubega, Sadat Kateregga, Sharif Mpanga,Nasif Kalyango ne Hassan Kisekka.
 
Kigambibwa nti akabinja kano kawamba Naggirinya ne dereeva we Ronald Kitayimbwa okuva ku geeti ye e Lungujja nebabatwala e Nama-Mukono gyebabattira oluvanyuma lw'okubabbako amassimu gabwe n'essente.
Omusango guddamu nga July 15,2023.
 
Kasolo ategeezezza omulamuzi Isaac Muwata nti omuwandiisi wa kkooti Festo Nsenga yamugambye nti bagenda muteera ekirango mu mawulire ga Newvison nga bayita abajulizi be bajje bawe obujulizi ku lulwe naye kino yakigaanye kubanga ye ayagala ekirango kiteekebwa mu mawulire gonna.
 
Kasolo agambye nti abamu ku bajulizi be tebamanyi kusoma luzungu nga ekirango bwekiba muluzungu tekikya kubatuukako era abeera tagenda kufuna bwenkanya.
 
Kasolo yasooka n'asaba kkooti emuwe ssente obukadde 50 ateeke ekirango mawulire g'empapula gonna, ttivvi, leediyo n'emikutu gya soso meediya ng'ayita abajulizi be bajje bamuwolereze.
 
Yategeeza nti mikwano gye bayagala bajje bamuwolereze yasemba okubalaba mu 2019 nga tanakwatibwa era tamanyi nnamba zabwe yadde gyebabeera y'ensonga lwaki kyetagiisa okukozesa amawulire gonna okubayita.
 
Omulamuzi Muwata yagaana okumuwa ssente wabula n'alagira agende ayogere n'omuwandisi wa kkooti bafune engeri gyebamuyambamu kyokka era agaanye obuyambi bwabwe olw'okuba ekirango babadde bagala kukiteeka mu lupapula lwa Newvison.
 
Kati Kasolo alinawo omujulizi omu yekka nga yemusibe munne Johnson Lubega era mu ngeri y'emu Kasolo agenda kubeera mujulizi wa Lubega.
 
Kasolo avunaanibwa nebanne okuli Lubega, Sadat Kateregga, Sharif Mpanga,Nasif Kalyango ne Hassan Kisekka.
 
Kigambibwa nti akabinja kano kawamba Naggirinya ne dereeva we Ronald Kitayimbwa okuva ku geeti ye e Lungujja nebabatwala e Nama-Mukono gyebabattira oluvanyuma lw'okubabbako amassimu gabwe n'essente.
Omusango guddamu nga July 15,2023.
Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});