Ebyafaayo bya Paapa Leo XIV
May 09, 2025
Robert Prevost nga kati ye Paapa Leo XIV, yazaalibwa Chicago, Illinois mu America mu 1955, era ye Mumerika asoose okulya Obwapaapa.Ebyeddiini yasooka kubisomera muttendekero lya Klezia erya Catholic Theological Union of Chicago.

NewVision Reporter
@NewVision
Robert Prevost nga kati ye Paapa Leo XIV, yazaalibwa Chicago, Illinois mu America mu 1955, era ye Mumerika asoose okulya Obwapaapa.
Ebyeddiini yasooka kubisomera muttendekero lya Klezia erya Catholic Theological Union of Chicago.
Yalya Obuseserodooti mu 1982 ku myaka 27 e Roma. Yafuna diguli eyookusatu mu by’amateekaokuva mu Pontifical University of St. Thomas Aquinas e Roma.
Yasindikibwa e Peru gye yakola obuminsane okumala emyaka 20 ng’akola mu bantu abaavu ddala, ng’ali mu kibiina kya Agustino Omutuukirivu era yamala n’akikulembera mu nsi yonna ekyamuyamba okutambula mu mawanga mangi ddala. Yakulira
ebigo, yasomesa mu masomero ate oluvannyuma n’alya Obusumba
bwa Eklezia.
Mukadde we omusajja yali Mufaransa ate nnyina nga Muyitale. Prevost alina obutuuze bwa mirundi ebiri okuli obwa America ne Peru.
Ayogerwako ng’ayogera obulungi ennimi okuli; Olulatini, Olusipaana, Olungereza n’Oluyitale.
Amanyiddwa ng’atamala googera ne bannamawulire ng’abadde akwatagana nnyo ne Paapa Francis. Wadde Mumerika, 'si mu Mumerika' nnyo kubanga mu Amerika abaddeyo kitono. Bwe yamala okufuuka Omuseserodooti, n’asindikibwa okuweereza
e Peru. Oluvannyuma yaddayo mu America n’akolerayo ekiseer kitono ate n’azzibwayo e Peru era gye yaliira Obusumba.
Akulidde ku misinde kubanga yafuulibwa Omusumba mu 2015, Ssaabasumba mu 2020 ate n’afuuka Kalidinaali mu 2023. Ayogerwako ng’omukulembeze ow’enjawulo alowooza nti omusumba talina kubeera mu ofiisi, wabula alina okutuuka ku bantu
gye bali. Mu mwaka 2012, yavumirira eky’Abamerika okuwagira enkola ezikontana n’enjigiriza ya Eklezia naddala ku nsonga z’ebisiyiga n’abantu abaagala okukyusa
ekikula kyabwe okugeza omusajja okufuuka omukazi.
Nga tannalondebwa, abantu batono abaabadde basuubira Kalidinaali Prevost okulya obwa Paapa olw’okuba emyaka gye gyalabise nga emito ku balala abasembyeyo okulondebwa, nga n’Obwakalidinaali abumazeeko akaseera katono. Kyokka olw’enkola ye emufuula ow’enjawulo, Paapa Francis yamulonda mu mwaka gwa 2023 okukulira olukiiko olusengejja abagenda okufuuka Abasumba ba Eklezia, ekimu ku bifo ebisinga obukulu mu Vatican
No Comment