Paapa omupya awadde abantu essanyu

May 09, 2025

ENSI yajjudde ssanyu oluvannyuma lw’essaawa ebadde erindirirwa okumala ennaku bbiri okutuuka, Paapa n’alondebwa.

NewVision Reporter
@NewVision

ENSI yajjudde ssanyu oluvannyuma lw’essaawa ebadde erindirirwa okumala ennaku bbiri okutuuka, Paapa n’alondebwa.
Ebide eby’essanyu ebirangirira okulondebwa kwa Paapa omupya byavuze okumala akaseera mu Vatican ne Roma yonna eyabadde ewuuma obuwuumi olw’abantu abangi abaabadde bamaze ebbanga nga balindirira.
Ebide byavuze ne mu nsi endala zonna ku masaza amakulu aga Klezia okulangirira  mawulire ag’essanyu, okusanyukira Paapa akulembera Abatakotili abasukka obukadde 1,400 mu nsi yonna ate nga n’abatali Bakatoliki bangi bamukkiririzaamu.
Mu biseera ebide we byabadde bivugira nga n’omukka omweru nagwo gwabadde guyita
mu mudumu waggulu ku kasolya ka Klezia ya Sistine Chapel mwe balondera Paapa okulaga nti kiwedde. Ekyewuunyisa omukka olwatandise okufuluma ekinyonyi
ne kijja ne kigwa ku mudumu  ogugufulumya ate ne kibuukako.
Baffaaza babiri be baasoose okulabikira mu ddirisa eddene eriri ku Klezia ya St. Peter’s
Basilica ng’omu akutte ekitabo omulala akutte omuzindaalo alidinaali eyasomye amannya ga Paapa eyalondeddwa mwe yabadde agasoma.
Olwo ate faaza omulala n’avaayo ng’akutte omusaalaba omuwanvu okuli ekifaananyi kya Yezu ng’emabega we Paapa omupya ayitibwa Robert Prevost, 69, enzaalwa y'e Chicago mu America wabula ng'alina n’obutuuze bw’e Peru. Yamala emyaka 20 beddu
ng’aweereza nga omuminsane mu basinga obwavu mu Peru. Omuzadde Omusajja yali Mufaransa ate omukyala yali nzaalwa ya Yitale, kyokka baamuzaalira mu Amerika.
Mu kadde omukka we gwafulumidde n’abaabadde bali mu ssanyu mu kibangirizi kya
St. Peter’s Square nga basaba, baabivuddeko ne badda mu nduulu , eng’oma, okubwatuka kw’engalo ez’amaanyi n’amazina nga buli ggwanga lizina gaalyo. Abamu n’omukisa Paapa gwe yawadde baabadde tebawulir nga bali ng’abaagudde eddalu
olw’essanyu.
Paapa, eyalonze erinnya lya Leo XIV yawadde omukisa gwe bayita
‘Urbi et  rbi’ ekitegeeza omukisa oguweebwa abali mu kibuga (Roma) n’abali mu nsi yonna. Paapa Leo XIV era yafuuse Omusumba wa Roma ng’agenda  kuba emirimu gy’obusumbaobwo agenda kugikoleranga mu Klezia eyitibwa Archbasilica of St. John Lateran. Eyo etwalibwa nga Basilica esinga zonna mu nsi kye bava bagattako akagambo Arch akatali ku ndala zonna. Paapa Leo XIV y’azze mu kifo kya Paapa Francis eyafudde  ku nga Easter Monday nga April 21, 2025. Paapa yalondeddwa ku
lunau olwokubiri oluvannyuma lw’a alulu akaasoose okukubwa ku Lwokusatu, Bakalidinaali ne balemwa okufunamu omu. Ku Lwokuna ku makya, baavude mu kisulo  kya Santa Martha, Paapa Francis gye yali asula nabo gye baabadde basula ne baddayo mu Sistine Chapel okuddamu okulonda olunaku olwokubiri.
Baalonze akalulu akookubiri kyokka ku ssaawa mukaaga n’eddakiika 50, omukka omuddugavu gwazzeemu ne gufuluma mu mudumu ekyasoose okunnyogoza
abaabadde balinze amawulire amalungi ebweru mu kibangirizi kya St. Peter’s Basilica.
Bangi ng’abasinga ebintu baabadde babirabira ku ntimbe ggaggadde, ku mikutu okuli BBC, Vatican News, CNN n’emirala, baatambuddemu ne bavu mu kibangirizi ekyo okugenda e Roma balye ku kyemisana. Bazzeeyo mu kibangirizi ekyo akawungeezi okuddamu okulaba ekigenda mu maaso okutuusa we baalabye omukka omweru ku
ssaawa 12.06 ez’akawungeezi (eza  wano 1.06) ne bassa ekikkowe.

ABAAKULIDDE OKULONDA
Bakalidinaali basatu abaaweereddwa ogw’okulondesa Paapa nga  bakulembeddwa Kalidinaali Pietro Parolin, 70, ow’e Italy, baabadde ku mulimu gwa kubala bululu nga
buli mulundi balaba ebivuddemu ne bookya obupapula obukozeseddwa  abalonziObupapula obwo baabaddenga babugattamu 'kemiko' enzirugavu
okutegeeza abaabadde bagoberera nti Paapa tannafunika.
Obupapula obulala bwe baakozesezza  okulonda Paapa, bwe yafunise baabugassemu 'kemiko'enjeru omukka omweru ne guvaayo  ensi n’ebugaana essanyu. Kyokka waliwo ekyewuunyo ky’akanyonyi akaabadde katera okujja okumpi n’omudumo ogwabadde  guyisa omukka. Abantu baabadde bakeewuunya bwe kajja nga bwe kavaawo wadde abamu tebaakalabye.
Abaakalabye baawanuuzizza nti kalangirira mawulire gasanyusa era ne ku luno kazze ne kagwa ku mudumo ng’omukka gwakafuluma oluvannyuma ne kabuuka ng’omukka.
PAAPA YATWALIDDWA MU KISENGE KY’ERINNYA ERY’EBYAFAAYO
Nga Paapa amaze okulondebwa, atwalibwa mu kisenge eky’ebyafaayo. Ne Paapa Leo XIV era yatwaliddwa mu kisenge ekimanyiddwa nga “Room of Tears.”
Ekyo kye kisenge Paapa omupya mwe yeegereza mu  byambalo ebyeru eby’Obwapaapa
n’enkoofiira enjeru. Biba bisatu ebya sayizi ez’enjawulo n’alondako ekimutuuka.
Ekigambo ekyo oyinza okukivvuunula nti, ekisenge mwe bakaabira. Omukutu gwa Wikipedia gulaga nti, Bapaapa bwe baba balondeddwa, bawulira okutya kuba babadde tebakisuubira ne bakaaba nga bwe beegeza mu ngoye. Paapa olwazze munda ekibangirizi kya St. Peter’s mu kaseera katono nakyo kyabadde kikaze buli muntu n’akwata erirye.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});