MSGR. Expedito Magembe afudde ku myaka 89
May 09, 2025
MSGR. Expedito Magembe 89, ow’e Bukalango afudde. Cansala w’essaza ekkulu erya Kampala Fr. Pius Male Ssentumbe yeyakakasizza okufa kwa musajja wa katonda ono eyafiiridde mu ddwaaliro e Nsambya leero

NewVision Reporter
@NewVision
MSGR. Expedito Magembe 89, ow’e Bukalango afudde. Cansala w’essaza ekkulu erya Kampala Fr. Pius Male Ssentumbe yeyakakasizza okufa kwa musajja wa katonda ono eyafiiridde mu ddwaaliro e Nsambya leero
Msgr Magembe ye yatandikawo ekifo kya “Bukalango Prayer Centre” yayatiikirira nnyo mu myaka 2000, abalokole bwe baali batandise okusikiriza abavubuka okuva mu Klezia olw’ensinza yaabwe ey’enjawulo erimu okusaba nga bayimba bwe bazina naye kwekwongeramu amaanyi e Bukala
Ensinza ya Msgr Magembe eya Karismatiki yakwata nnyo abavubuka omubabiro, abakyala n’abasajja abalina ebizibu bwe yatandiika naye okutegekaawo okusaba okwokusimululwa okw’ekiro [Night prayers] mwabadde agobeera emizimu n’okusumulula abantu abagenzeeyo n’e bizibu byabwe buli omu naddayo ewuuwe nga mumattivu nti asumuluddwa
Amaze ebbanga ng’atawanyizibwa obulwdde obw’enjawulo natwalibwako ne mu ddwaaliro lya Aga Khan Hospital e Nairobi mu Kenya era yasemba okulabikako mu lujjudde e Bukalango mu kusaba kwa December,31,2024
Cansala Fr. Male agambye nti Klezia egenda kusubwa nnyo Msgr Magembe kubanga abadde n’e kitone eky’enjawulo mu buweereza bwe.
Agambye nti Klezia mu kiseera kino tenaba kufulumya nteekateeka egenda okugobererwa mu ku muwerekeera.
Msgr Wynand Katende yagambye nti musajja wa Katonda ono Msgr Magembe afudde awangalidde mu bunnaddiini ye era emyaka ng’ebbiri n’e kitundu egiyisse yali yajaguza okuweeza emyaka 50, mu buweereza buno ekintu ekitali kya bulijjo kubanga kiraga nti abadde agundidde mu bunnaddiini.
“Ono tabadde munnaddiini wa bulijjo kubanga obuweereza bwe bubadde busika abantu okudda eri katonda ng’ate ekyo kye kikulu ennyo okuyamba abantu okulokoka” Msgr Katende bweyamwogeddeko.
Yayongeddeko nti amusabira katonda amuwe empeera mu ggulu kubanga alokodde abantu bangi ng’ayita mu kifo kye yatandiikawo e Bukalango gattako n’okusomesa bannaddiini mu seminale ya St Mbaga.
Munnamawulire Lozio Tamale Luyinda amaze emyaka 22, ng’asabira e Bukalango agamba nti newankubadde musajja wa katonda ono alina okuyitiibwa okwenjawulo mukama katonda kwe yamuwa abadde yasigaza obukakkamu.
“Nzijjukira mu 2015- 2016 waliwo olutalo olwa maanyi wakati w’omugenzi Mukajanga ne Fr Kibuuka nga Paapa yakamala okujja wano. Naye Msgr eyabakuza teyalabikako n’olunnaku n’olumu ng’ayogera ku nsonga eno wabula yafuba nnyo okulaba nga batabagaana” Tamale bweyategezezza
Yagambye nti wadde abadde musajja mukadde naye abadde asobola okuyimirira ku kituuti kumpi ekiro kyonna naye ng’ate mwe abavubuka mukooye.
Bantu bangi nnyo abakyusiza obulamu bwa bwe olw’e kifo ky’e Bukalango era ekifo kino kinenne nnyo nga kituuza abantu wakati w’e mitwalo 20 -30 abaabadde babooga buli December/31 nga tuyingira omwaka omuggya.
EBINTU EBY’ENJAWULO BYAFUDDE ATANDIISSEEWO.
Abadde yatandikawo ekibiina kya ba Sisita kye bayita Bride Of The Lamb e Bukalango, alina amassomero okuli St Tereeza, St Mary’s Bukalango era afudde atandissewo amasomero ga Pulayimale ne siniya agaweerako naye nga gonna gakulemberwa ba sisita bano.
Alina eddwaaliro e Bukalango eribadde ligaba obujanjabi obwobwereere, yatandikawo Bukalango TV n’ebintu ebirala bingi . Yazaalibwa mu 1November/1936.
No Comment