Abalokole b'oku nguudo bavuddeyo ku kya KCCA okubagoba

Feb 17, 2023

ABABUULIZI b’enjiri mu Kampala basekeredde abakulira ekitongole kya KCCA ababalaalise okubagoba mu kibuga olw’okuleekaanya ebizindaalo nga babuulira enjiri. 

NewVision Reporter
@NewVision

Bya Ponsiano Nsimbi 

ABABUULIZI b’enjiri mu Kampala basekeredde abakulira ekitongole kya KCCA ababalaalise okubagoba mu kibuga olw’okuleekaanya ebizindaalo nga babuulira enjiri. 

Bano bagamba nti tebayinza kuva mu kibuga kubanga ne Yesu bwe yali abuulira enjiri yatambulanga mu bibuga.

Charles Ssengoba omubuulizi w’enjiri ku Mutaasa Kafeero yategeezezza nti enjiri gye babuulira ddoboozi lya Katonda ng’oyo yenna avaayo okugirwanyisa abeera y’ekiise mu kkubo lya Mukama. 

Ye Wilberforce Mastiko yagambye nti abantu bangi abayita mu kusoomoozebwa nga kirungi’okubabuulira ekigambo kya Katonda ekizzaamu essuubi n’okubagumya. 

Bano okuvaayo kyaddiridde olukiiko olufuzi olwa KCCA okufulumya ekiwandiiko ekiraalika abantu bonna abenyigira mu mirimu egikozesa ebizindaalo ebireekaana okwamuka ekibuga.  Muno mulimu Abalokole abakola ogw’okubuulira enjiri ku nguudo, ebifo ebisanyukirwamu, amasinzizo n’abalala. 

Muzeeyi Charles Ssenoga Omubuulizi W'enjiri Mu Kampala,  Ng'abuulira Enjiri N'omuzindalao Gwe Okuliraana Mutaasa Kafeero.

Muzeeyi Charles Ssenoga Omubuulizi W'enjiri Mu Kampala, Ng'abuulira Enjiri N'omuzindalao Gwe Okuliraana Mutaasa Kafeero.

Mu kiwandiiko kino KCCA ekubirizza bannannyini bifo bino okusala amagezi okulaba nga batangira amaloboozi agava mu bifo byabwe okusasaana.  

KCCA yalabudde bannannyini bifo bino ne bamaneja baabyo nti singa tebagoberera mateeka  bandiweebwa ebibonerezo okuli ; okugobwa mu kibuga, okubaggyako layisinsi, obutazza bujja layisinsi zaabwe. 

Bino babyesigamizza ku tteeka lya The National Enviroment (Noise Standards and Control Regulation 2003) ne The Trade Licensing Act 1969. 

Kinnajjukirwa nti guno si gwe mulundi ogusoose nga KCCA egoba abantu bano mu kibuga nga ne ku mulembe gw’eyali dayirekita wa Kampala, Jennifer Musisi, Abalokole baagwoba ku nguudo kyokka ne bakomawo. 

Ku nguudo ezimu bano bateekawo n’ebibbo mwe bakungaanyizza ebiweebwayo ssaako okusabira abantu n’okubasiiga amafuta. 

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});