Eyawangudde e Serere yeegasse ku NRM mu butongole

Mar 02, 2023

Eyawangula akalulu ke Serere Emmanuel Omoding alwaleero yegasse mu butongole ku kibiina Kya NRM  oluvanyuma lw'okuwangula ekifo kino ku bwanamunigina.Ono atadde omukono kundagaano nga akabonero akalaga nti obuwereza bwe bwonna eri abantu b'e Serere bwakwesigamizibwa nga ku mateeka agafuga ekibiina Kya NRM .

NewVision Reporter
@NewVision

Eyawangula akalulu ke Serere Emmanuel Omoding alwaleero yegasse mu butongole ku kibiina Kya NRM  oluvanyuma lw'okuwangula ekifo kino ku bwanamunigina.

Ono atadde omukono kundagaano nga akabonero akalaga nti obuwereza bwe bwonna eri abantu b'e Serere bwakwesigamizibwa nga ku mateeka agafuga ekibiina Kya NRM .

Omoding okujja ku NRM  mu butongole awerekedwako nampala wa gavumenti Hamson Obua  ne minista omubeezi  ow'eby'emizannyo Peter Ogwanga nga olutuuse bamwanjulide ssabawandiisi w'ekibiina Kya NRM Richard Twodong kwossa n'akulira akakiiko k'ebyokulonda aka NRM  Dr Tanga Odoi.

Omubaka Omoding annyonyode nti asazeewo okwegatta ku NRM  mu butongole asobole okutuusa empeereza ennungi  eri abantu be Serere era bwatyo n'asaba ne mu nkiiko za NRM akirizibwe nga okuzetabamu.

Ssabawandiisi w'ekibiina Kya Nrm Richard Twodongo alambuludde  ensonga lwaki NRM  teyamuwagira mu kulonda okwakaggwa naye olw'okuba asazeewo okubegattako kati waddembe okutandika okutambuza emirimu gye nga yesigamye ku ssemateeka afuga ekibiina Kya NRM.

Deborah Nshemereirwe omu kubannamateeka b'ekibiina Kya NRM asomede Omoding amateeka agafuga ekibiina gateekedwa okugoberera nga olubeerera .

Oluvanyuma bamukwasizza ebikozesebwa okuli manifesto ya NRM

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});