Okunyeenya amatabi e Kitovu: Mukozese olunaku luno okwezza obujja mu mitima
Apr 02, 2023
Abakristu beeyiye mu bungi mu Klezia Lutikko e Kitovu mu Masaka okwetaba mu mmisa y'okunyeenya matabi.

NewVision Reporter
@NewVision
Abakristu beeyiye mu bungi mu Klezia Lutikko e Kitovu mu Masaka okwetaba mu mmisa y'okunyeenya matabi.
Mmisa ekulembeddwa Omusumba w'essaza lye Masaka Bp. Serverus Jjumba nga yeetabyeeko n'akulira oludda oluvuganya Gavumenti mu Palamenti, Mathias Mpuuga Nsamba.
Abamu Ku Beetabye Mu Mmisa E kitovu
Omusumba Jjumba asabye Abakristu okukozesa olunaku luno okwezza obujja eri Katonda waabwe nga bajjukira akabonero k'okwaniriza Kristu mu bulamu bwabwe eyajja okubafiirira olw'ebibi byabwe.
Omusumba asiimye ne Gavumenti olw'okukola oluguudo oluva mu Nyendo okutuuka ku Lutikko e Kitovu olwali mu mbeera embi emyaka egiyise nga kati lutemagana ekyanguyiza abakristu okweyuna Lutikko.
Mathius Mpuuga, akulira oludda oluvuganya ng'atuuka ku lutikko e Kitovu
No Comment