Ebigambo bya Isma Olaxes ebikaawu nga omususa!
May 10, 2023
OLAXES abadde yeeyita Jjajja Ichuli, Jjajja god, King Kong, Worldwide n’amannya amalala azze awanda ebigambo.

NewVision Reporter
@NewVision
OLAXES abadde yeeyita Jjajja Ichuli, Jjajja god, King Kong, Worldwide n’amannya amalala azze awanda ebigambo.
Yeeyogerako nti ku nsi atya Katonda yekka. Azze ayogerera aba NUP ekikulemberwa Robert Kyagulanyi nti, ne bwe banaakola batya tebalina ngeri gye bayinza kuggya NRM mu buyinza n’agattako nti, “We are strong in air, on land and in water” ebivvuunulwa nti, ‘tuli bakirimaanyi mu bbanga, ku ttaka ne mu mazzi.
Wiiki ewedde, omukuumi wa minisita omubeezi ow’abakozi Engola, bwe yamukubye amasasi agaamusse e Kyanja, Isma Olaxes yatadde akaka bwe yagambye nti:
Bamukubye... Genda... genda... mwe muleetedde abantu obusungu. Mwe ne mwepalawuda mu mmotoka ez’ebbeeyi, mutambuza ffamire zammwe paka Bulaaya, ne mwejjanjabira mu malwaliro g’omu America.
Omuntu waabulijjo talina ky’akufunamu, omunyunyunta, akukuuma asula bweru kyokka abaana be tebasoma mbu ‘minisita of Labour’. What type of minisita of labour? N’ojja mu ofisi yenna ne weepalawudda n’obuwala obwambadde obusikaati nga bwonna obuba bwabugwaamu... tubakolera naye tubataddeko amaaso abiri (2). Time will come...’
l Mu kuziika Al Hajji Nasser Ntege Sebaggala mu September wa 2020, Isma yalumba abakungubazi omwali ne Robert Kyagulanyi Pulezidenti NUP n’abamu ku bantu be nti baali tebagwaana kwetaba mu kuziika kuno.
Yategeeza nti okuziika kuno kwali kwa Basiraamu noolwekyo Bobi Wine ne banne be yayita abakaafiiri ne batuula ku misaalo kyali kityoboola eddini.
Yatuuka n’okukulukusa amaziga n’ategeeza nti, “Basiraamu muzuukuke, eddiini yaffe abakaafiiri bagisaanyaawo nga tulaba, baabano mbalaba ku TV bali ku misaalo gyaffe batudde nga tumanyi bulungi bwe baba bagenze emmanju tebagenda na budomola, emisaalo gyaffe bagiddugaza, bakyafu, muzuukuke tutaase eddiini yaffe,” n’agattako n’okukuba ‘Takbir’.
l Mu May w’omwaka gwe gumu Isma yatabukira Katikkiro Charles Peter Mayiga ku by’okudduukirira abantu mu muggalo. Yamutegeeza nti amaanyi ge yakozesa mu kunoonya ettoffaali agakozese ne mu kuyambako okufunira abantu ba Buganda akawunga n’ebijanjaalo baleme kufiira mu mayumba.
l Olumu yayambalira Full Figure n’amuvuma okumuleka obulere n’atiisatiisa n’okumukuba aveemu n’olubuto (mu kiseera ekyo yali lubuto) nti ye tamukwatibwa kisa kuba ye (Isma) tazaala.
l Mu October w’omwaka gwe gumu, Isma yalumba omuyimbi Winnie Nwagi ku by’okukunama n’amugamba akomye okulaga abantu amakugunyu agalimu ebituli.
l Yalumba Balaam Barugahare omutegesi w’ebivvulu n’amulangira obunnanfuusi n’obutaagaliza nti ye yabalemesa n’okufuna ssente ze baakolera mu kunoonyeza Pulezidenti Museveni akalulu akaamukomyawo mu ntebe ekisanja kino.
No Comment