Mukyala wa Pulezidenti Yoweri Museveni, Janat Kataha Museveni akubirizza amaka okuteeka essira ku nkuza y'abaana n'engunjula yaabwe gy'agamba nti kwekesigamye empisa y'amaka amagumu.
Mu bubakabwe bw'atisse akulira abakozi mu kitongole kya KCCA, Dorothy Kisaka mu lukungaana lw'abafumbo olutegekeddwa ab'ekibiina kya Bible Society of Uganda, ku woteeri ku Africana, mukyala Museveni alaze obukulu obuli mu kukuza abaana omuli abazaalibwa mu maka wamu naabo be bayola nga bazaaliddwa abantu abatali ba waka.
Wadde nga mu maka mubaamu ebisomooza ku buli ludda, Muky.Museveni asabye Abaami n'Abakyala, okulembeza okusonyiwa singa wabaawo asobezza.
Nnankulu wa KCCA Dorothy Kisaka ng'abuuza ku mulamuzi Micheal Kibita