Pasita Kayanja awadde obujulizi mu gw’okumulebula

PASITA Robert Kayanja owa Miracle Centre Cathedral e Lubaga awadde obujulizi mu musango gw’okumulebula oguvunaanibwa abagambibwa okubeera abaali abakozi ku ffaamu ye n’abagambibwa okubeera abakozi ba Pasita Ssenyonga.

Pasita Kayanja
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

PASITA Robert Kayanja owa Miracle Centre Cathedral e Lubaga awadde obujulizi mu musango gw’okumulebula oguvunaanibwa abagambibwa okubeera abaali abakozi ku ffaamu ye n’abagambibwa okubeera abakozi ba Pasita Ssenyonga.
Yabadde mu kkooti ya Nateete- Lubaga eyakubyeko obugule olwo Pasita Kayanja 62, omutuuze w’e Kawuku n’atandika okuwa obujulizi ku bantu 9 abagambibwa okumulebula, okusaalimba n’okuwa omuserikale wa poliisi amawulire g’obulimba mu maaso g’omulamuzi Adams Byarugaba.
Abavunaanibwa kuliko; Peter Serugo, Regan Sentongo, Labib khalifa , Alex Wakamala, Moses Tumwine, Martin Kagoro, Israel Wasswa, Aggrey Kanene ne Jamil Mwanda.
Kigambibwa nti, nga September 17, 2021, bano bwe baali ku kkanisa eno, baatandika okuwogganira waggulu nga bwe bamuweebula nga baagala abasasule.
Mu bujulizi bwe Kayanja yategeezezza kkooti nti omukaaga ku bano baali abakozi ku ffaamu ye, era yasooka kubamanya bwe waaliyo okusaba okwali kuyitibwa “77 Days Of Glory” (77 DOGS) era nga be bamu ku baali bakifeesi abaasalawo okukyusa obulamu ne basaba okugattibwa ku ttiimu enkuumi era ne batwalibwa ku ttendekero ly’abaserikale ery’e Kabalya ne batendekebwa.
Oluvannyuma baatwalibwa okukuuma ku ffaamu e Kiryandongo ne ku kkanisa era ng’emu ku nkola eyokubabudamya n’okubeezaawo obulamu bwabwe nga bwe bakola nga ssente ze baali bakolera zaali zaakuterekebwa zibaweebwe oluvannyuma lw’akaseera.
Kayanja yagambye nti, oluvannyuma lw’okukolera akaseera yatandika okufuna amawulire ag’emize okwali okulwanagana, obubbi n’okunywa omwenge n’ebiragalalagala wamu n’okubulawo ku mulimu era olumu Peter Serugo yaggyayo emmundu n’afulumya amasasi era n’abba baliraanwa bwe yajeemera ebiragiro bya Reagan Ssentongo eyali abakulira.
Kayanja yategeezezza kkooti nti nga amaze okufuna akatambi akaali kalaga nga abakozi be bwe baali bagangayidde yakasindikira eyali abakulira wabula mu bbanga ttono yabeewuunya okulaba nga bano baali batuuse ku kkanisa nga bawogganira waggulu nga bwe bamuweebuula.
Poliisi yabakwata n’ebaggalira ekyamwewuunyisa ennyo kuba yali abasuubira kubeera ku ffaamu.
Yagasseeko nti Israel Wasswa ye mutwe omukulu okukunga abavunaanibwa kuba ye yasooka n’okubatuukako nga baakakwatibwa era nga bakirimu ne Agrey Kaneene ne Jamil era nga yeewuunya abantu abatali ba kkanisa era abatali baawamu gye baakwataganamu nga okuva e Kampala okutuuka e Kiryandongo kitwalira omuntu essaawa ssatu n’ekitundu.
Omulamuzi Byarugaba omusango yagwongezzaayo okutuusa nga October 17 2024 oludda oluwawaabirwa okwongera okubuuza Pasita Kayanja ebibuuzo ku bujulizi bwe.