Abantu balabuddwa ku kukweka endwadde
Apr 24, 2025
OMUMYUKA asooka owa Kaggo, Ronald Bakulu Mpagi asabye abantu okwettanira okwekebeza n’okufuna o ujjanjabi kibayambe okwegobako endwadde.

NewVision Reporter
@NewVision
OMUMYUKA asooka owa Kaggo, Ronald Bakulu Mpagi asabye abantu okwettanira okwekebeza n’okufuna o ujjanjabi kibayambe okwegobako endwadde.
Bakulu Mpagi yagambye nti abantu bangi balwadde kyokka beeremezaako endwadde nga balemererwa okugenda mu malwaliro okufuna obujjanjabi obutuufu ne kivaako okukona. Yalabudde abantu okwewala okukozesa ebiragalalagala kubanga byonoona obulamu bwabwe.
Yabyogedde bwe yabadde atongoza olusiisira lw’ebyobulamu olwategekeddwa Dr. Andrew Ddungu akulira eby’obulamu mu Ssaza lya Kyaddondo era nga ye nnannyini
ddwaaliro lya Peoples e Gayaza abantu we baakung’aanidde. Dr. Ddungu yagambye nti okukebera abantu n’okufuna obujjanjabi obw’obwereere y’omu ku kaweefube gwe bataddewo nga baanukula omulanga gwa Ssaabasajja Kabaka ogw’okwekuuma nga tuli balamu. Dr. Ddungu yagambye nti abasawo abaaleeteddwa bakugu mu kujjanjaba endwadde ez’enjawulo era n’asaba abalwadde okuvaayo bafune obujjanjabi obw’obwereere n’okukeberwa endwaadde ez’enjawulo mu kiseera kino. Omukolo guno gwegattiddwako bannabyabufuzi okwabadde Betty Ethel Naluyima omubaka omukazi
owa Wakiso eyasabye abantu abalina endwadde okwewala okuddukira mu ddogo nga balowooza nti gye bagenda kufuna obujjanjabi obutuufu. Tom Muwonge Mmeeya wa Town council ya Kasangati naye yabaddewo n’abalala.
No Comment