Abasomesa be Mpigi babanguddwa mu misomo gya Science

Apr 24, 2025

Mukaweefube wa gavumenti ow’okutumbula ssaayansi, abasomesa ba pulayimale mu disitulikiti y’e Mpigi batendekeddwa mu kusomesa nga bakozesa ebintu (science kits) eby’omulembe ebyayiiyizibwa munkola eya ssaayansi eyamba omuyizi okulaba wamu n’okukwata kukyebamusomesa ng’omutimu, eby’enda ensigo n’ebintu ebirala eby’amasomo ga ssaayansi. Okutendeka kuno kubadde kwa lunaku lumu lwokka eranga kuyindidde wali ku ssomero lya UMEA Primary School e Mpigi. 

NewVision Reporter
@NewVision
Mukaweefube wa gavumenti ow’okutumbula ssaayansi, abasomesa ba pulayimale mu disitulikiti y’e Mpigi batendekeddwa mu kusomesa nga bakozesa ebintu (science kits) eby’omulembe ebyayiiyizibwa munkola eya ssaayansi eyamba omuyizi okulaba wamu n’okukwata kukyebamusomesa ng’omutimu, eby’enda ensigo n’ebintu ebirala eby’amasomo ga ssaayansi. Okutendeka kuno kubadde kwa lunaku lumu lwokka eranga kuyindidde wali ku ssomero lya UMEA Primary School e Mpigi. 
 
Okusinziira kw’akulira eby’enjigiriza mu distulikiti y’e Mpigi, Deogratias Ssekyole batendese abantu 43, nga kuno kubaddeko abasomesa 40 okuva mu masomero ga gavumenti mu distulikiti eno, wamu n’abasomesa 3 okuva mu ssomero limu ery’obwannannyini. 
Ebimu ku bisomeseddwako

Ebimu ku bisomeseddwako

 
Ssekyole ategeezezza nti mu 2021 gavumenti yakwatagana n’ekitongole ky’obwannakyewa ekya River Flow International n’etandikawo pulojekiti ey’okusaasaanya ebintu eby’omulembe (science kits) eby’eyambisibwa mukusomesa n’ekiruubirirwa eky’okwanguyiza abasomesa okubangula abayizi mumasomo ga ssaayaansi. 
 
Oluvannyuma lw’okugaba ebintu bino, baalina n’okukola emisomo egy’okutendeka abasomesa engeri ey’okukuuma wamu n’okukozesaamu ebintu bino nga basomesa abayizi, wabula baatataaganyizibwamu ebbula ly’ensimbi nebatakikolerawo. 
 
Ssekyole agamba, distuliikiti y’e Mpigi erimu amasomero ga gavumenti aga pulayimale 110, wabula ebintu bino baabigabirako amasomero 20 gokka ge balonda nga basinziira ku masomero agasinga okukola obulungi 15, n’agasingayo okukola obubi amasomero 5, eranga buli ssomero baaliwa akabokisi (kit) k’ebitu bino kamukamu.  
 
Amasomero ag’obwannanyini go gavumenti si yeegagulira ebintu bino, wabula galina kukwata munsawo negabyegulira, eranga buli kabookisi (kit) k’ebintu bino gagulwa obukadde musanvu. 
 Ayongeddeko nti Mpigi erimu amasomero ga pulayimale ag’obwannannyini nga 500, wabula kugano essomero limu lyokka lye lyakegulira kubintu bino ebiyamba mukwanguyiza abasomesa mukusomesa ssaayansi. 
 
Omukungu okuva mu minisitule y’ebyenjigiriza avunaanyizibwa ku pulojekiti y’okugabira amasomero ebintu bino ebiyanguya okusomesa ssaayaansi, Abby Musoke, agamba ebintu bino bigenda kuyamba ssaayansi okugenda mumaaso olw’ensonga nti abaana bwe basoma nga balaba era nga bakwata kukibasomesebwa babitegeera mangu ate nebibabukala mubwongo.
 
 Okusinziira ku Musoke gavumenti yaakagula obubokisi 1336 obulimu ebintu bino ebyanguyiza abasomesa okubangula abayizi mubuli ssomo lya ssaayansi. Kubookisi bw’ebitu bino 1336, buli ssomero lya gavumenti bagenze baliwaako akabookisi kamukamu, eranga kati baakabugaba mu distulikiti ezisoba mu 50 okwetooloora eggwanga.
Ebimu ku bisomeseddwa mu science

Ebimu ku bisomeseddwa mu science

 
Aliziki Nambi omu kubatendekeddwa, ateera nga ye mukulu w’essomero lya Mpigi UMEA, primary School, agamba ebintu bino bye baabawa bibadde tebirinaawo njawulo yonna gye bitaddewo mukuyamba abayizi mumasomo ga ssaayansi. Ono annyonnyodde nti ebintu bino baabawa bitono okusinziira ku muwendo gw’abayizi gwe balina, ate n’abasomesa bennyini be baabiwa babadde tebamanyi kubikozesa bulungi olw’okuba babadde tebanatendekebwa.  
 
Okwongera okwanguyiza abayizi, Nambi asabye gavumenti ebintu bino ebikolemu obutambi bw’ebifaanayi ebitambula, ate erowooze nekuky’okussaawo enteekateeka ey’enjawulo ewa abayizi ba UPE emmere. 
 
“Omuyizi ssaayansi gwemwagala ayige tajja kumutegeera ng’enjala emuluma”, bw’ati Nambi bwe yayongeddeko ng’akkaatiriza obukulu bw’okulya mukuyamba omuyizi okuyiga ssaayansi n’ebintu ebirala byonna ebimusomesebwa okutwaliza awamu.
 
Ab’ekitongole kya River Flow International, gavumneti beyakkaanya nabo okugikolera ebintu bino wamu n’okubangula abasomesa mukubikozesa wamu n’enkuuma yaabyo ebiwangaaza.
Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});