Aba Mwoyo Gwa Ggwanga e Wampeewo Ntakke S.S bakyusizza obukulembeze

ABA kiraabu ya Mwoyo gwa ggwanga mu ssomero lya Wampeewo Ntakke  SS bakyusizza obukulembeze.

Abadde Pulezidenti wa Kiraabu, Christopher Mayambala ng'azzaayo Obuyinza ew'akwanaganya emirimu gya Kiraabu; Muhamad Makubuya.
By Moses Nyanzi
Journalists @New Vision

Abakulembeze ababaddeko babuddiza omukwanaganya Muhamad Makubuya ate naye n'abukwasa abaggya abagenda okukulembera kiraabu eno omwaka mulamba.

Kiraabu eno ekolerwa mu ssomero eri abo abayingidde S.1 ne S.5, omukolo guno gwasoose n'okukuumba, saako okukuba ebirayiro abo abatendekeddwa,mu maaso g'omumyuuka wa kamisona okuva ku ggwandiisizo lya Patriotism mu ofiisi ya Pulezidenti, Mubarak Magoma.

Yabasabye okukola ebituufu ebibagasa ate nga bigasa eggwanga.

Omukwanaganya w'enkola eno mu Wakiso Milton Chebet yeenyumiriza nnyo ssomero lino, ate alikulira Mike Ssekago ne yeeyama okugenda mu aaso nokukolagana ne Offiisi ezikwatibwako ensonga Eno.