ABAWAGIZI ba ttiimu y'eggwanga ‘The Cranes’ baavudde e Kitende nga beekokkola omutindo ogw'ekiboggwe omutendesi Micho Sredejovic gwe yayolesezza nga balemagana ne Niger ku Lwokusatu mu mpaka z'okusunsula abalyetaba mu AFCON omwaka ogujja.
micho
Obwedda abawagizi bagamba nti Micho abaviire ku ttiimu kuba yafuuka musuubuzi w'abazannyi mu kisaawe era y'ensonga lwaki ttiimu ekyabonaabona.
Bagambye nti Micho n'abazannyi okuli Emmanuel Okwi, Miya Farouk, Bevis Mugabi ne Khalid Aucho babaviire ku ttiimu y'eggwanga.
Ggoolokipa wa Niger ng'alemesa owa Cranes okumuteeba.
Abamu obwedda bagamba nti tebajja kudda mu kisaawe nga ttiimu y'eggwanga ekyazannya omupiira ogw'essomero kuba tekyabeyagaza.