OMUKULU w'ekika ky'Emmamba, Omutaka Gabunga James Mubiru Ziikwa V akunze abavubuka okwenyigira mu buweereza bw'ekika basobole okubangulwa mu bukulembeze.
Gabunga agamba nti, abavubuka bwe batandika obuweereza bw'ekika nga bakyali, bateekebwa ku nkiiko ezikola emirimu era kyangu n'obukulembeze obulala nga Mmengo okubalondobayo ne baweebwa obuweereza.
Yabadde ayogera eri bazzukulu be okuva mu Ssiga lya Kagenda e Luwunga- Mawokota abazze okukiika mu mbuga ye e Kabowa mu ggombolola y'e Lubaga mu nkola eyitibwa 'Olutikkulo lw'emmamba' ku Ssande. Mu nkola eno, abazzukulu okuyita mu masiga gaabwe mwe bayita okuwagira emirimu gy'enkulaakulana mu Kika kino.
Omutaka Kagenda Mulindwa Luyombo nga y'akulira essiga lya Kagenda yeebazizza Omutaka Gabunga olw'okutambuliza obukulembeze bwe ku nkulaakulana eruubirira okukyusa embeera ekika n'akunga abazzukulu okwettanira obumu n'okwetaba mu nteekateeka z'okukuuma obutaka ku mitendera gyonna. Kagenda yayanjulidde Gabunga olukiiko lw'essiga olupya nga lukulirwa Emmanuel Mulindwa nga Katikkiro, amyukibwa Musa Ssekubwa ne John Kiggwe, Daniel Kibudde ye mukubiriza ng'amyukibwa Majorine Nakkazi, omuwandiisi ye Paul Nantajja Lumanyika ng'amyukibwa Steven Ssengoba.
Abadde Katikkiro w'essiga okuva mu 1978, Scofield Ssekubwa kati muwabuzi era y'akulira olukiiko lw'abayima