OMULAMUZI Jane Okuo Kajuga owa kkooti enkulu ewozesa abakenuzi ataddewo ennaku ttaano ez’okuwulira omusango gw’okubulankanya ssente z’ebibiina by’obwegwassi obuwumbi busatu oguvunaanibwa eyali omuwandiisi ow’enkalakkalira owaMinistule y’ebyobusuuzi, Geraldine Busuulwa Ssali n’ababaka ba Palementi.
Ssali avunaanibwa n’ababaka Micheal Miranga Mawanda, Ignatius Mudimi Wamakuyi, Paul Akamba ssaako munnamateeka Julius Taitakonko Kirya owa Kirya and Company Advocates ne Leonard Kavundira eyali akulira obwegassi mu minisitule y’ebyobusuubuzi.
Mu lutuula lwa kkooti ku Lwokusatu, Omulamuzi Kajuga yataddewo olwa September 9, 10, 15, 17 ne 24, 2026 okuwozesa Ssali ne banne omusango gw’okubulankanya ssente obuwumbi busatu n’obukadde 800 eza Buyaka bwe yakyusa olukakala okwali SACCO ezaali zirina okufuna ssente n’aggyako Buyaka. Era avunaabibwa okukozesa obubi ofiisi ssaako okufiiriza Gavumenti ssente.
Abawawaabirwa okuli Ssali, Mawanda, Akamba ne Munnamateeka Kirya baalabiseeko kyokka Kavundira teyabaddewo, Looyawe Owen Mulangira n’ategeeza Omulamuzi nti Kavundira teyafunye semanisi za kkooti wabula yasuubizza nti mu lutuula oluddako
ajja kubaawo.
Omulamuzi Kajuga yalagidde oludda oluwaabi okweteekateeka okuleeta obujulizi bwonna obwetaagisa mu musango n’assaawo nsalessale wa June 26 okuba ng’obujulizi bwonna bussiddwawo mu kkooti nga babuyisa mu nkola ey’omutimbagano eya ElectoronicCourt case Management informantion System (ECMIS).
Kajuga era yalagidde omuwandiisi wa kkooti eno, Patrick Talisuna okufuna abantu babiri abagenda okuyisibwa mu mitendera egy’okulondako anaakola ng’omuwabuzi wa kkooti oluvannyuma lw’omu ku bantu abali baalondebwa okukola obuvunaanyizibwa obwo okufa. Mu musango egyannaggombola, kkooti eronda abantu baabulijjo basatu
okukola ng’abawabuzi era bawa ensala yaabwe nga bwe babeera bagoberedde omusango.
OMUSANGO GWA SSALI
Ssali avunaanibwa okwekoobana ne Kavundira ne babulankanya obuwumbi busatu n’obukadde 800 ezaali eza Buyaka Growers Cooperative Society.
Oludda oluwaabi lwategeezezza nti mu October 2021 omubaka Mawanda yabulankanya
1,050,000,000/- ezaali ez’okusasula abantu abafiirwa ebintu byabwe mu lutalo olwaleeta Gavumenti ya NRM mu buyinza nga zaali ziyisiddwa mu SACCO eya Buyaka Growers
Cooperative Society Limited, naazikozesa ebibye. Ssabawaabi wa Gavumenti era alumiriza nti wakati wa October 2021 ne June 2023 mu Kampala omubaka Mudimi yezza 2,389,714,611/-, Omubaka Akamba kigambibwa nti yafuna obukadde 200, munnamateeka Kiirya yafuna 2,228,714,611/-.