Ssabasumba w’essaza ekkulu ery’e Kampala eyawummula, Kalidinaali Dr. Emmanuel Wamala kati munnalotale awedde emirimo. Kiraabu gyeyayingidde y’eya Rotary Club of Nsambya Premium. Gavana wa District ya Lotale eya 9214 (etwala ekitundu kya Uganda ne Tanzania), Owek. Daniel Mukasa Ddamulira y’eyatongozza Kalidinaali Wamala nga munnalotale. Omukolo gw’abadde munju ya Kalidinaali e Nsambya, ku Lwokusatu (July 15, 2026).
Bannalotale nga bali ne Cardinal Wamala
Pulezidenti wa Rotary Club of Nsambya Premium, Fr. Ponsiano Mayega y’ateegeezezza nti Kalidinaali baamuyingizza nga mmemba ow’ekiti ekya ‘Honorare’(honorary member), ekitegeeza nti tekimukakatako kwetaba mu nkungaana eza buli wiiki, oba okukakaalukanira mu mirimo gya Lotale, wabula ajjakubanga ng’abawa obuwagizi obw’amagezi, ebibuuliriro, n’essaala.
“Tukakasa nga okukkiriza kwe okw’ekimmemmette, essaala ze, n’eby’okulabirako bye ebirungi, bijja kutuzzaamu amaansy n’essuubi, twongere okunyweera mubuweerezaa bwaffe,” Fr. Mayega bweyategeezezza.

Bannalotale nga basisinkanye Cardinal Wamala
Oluvannyuma lw’omukolo gw’okutongoza Kalidinaali, Gavana Ddamulira yeetabye mu lukungaana lwa Bannalotale ba Nsambya Premium, mu Cardinal Wamala Leadership Training Centre Nsambya, gyeyayingirizza bammemba abapya bana mu kiraabu eno. Kubano kw’abaddeko Fr. Simon Peter Ssekyanzi (Bwanamukulu w’ekigo ky’e Ndeeba), Fr. Honoratus Kazibwe, Fr. Vianney Ssekalaala (asomea mu St. Mbaaga’s Major Seminary Ggaba), ne Bro. Mathias Kasumba. Y’atongozza ne pulaani nnamutayiika eya kkiraabu eno, ey’emyaka 3.
Mukusooka, Gavana Ddamulira y’akyalidde abakyala n’abavubuka abeegattira mukibiina kya Nsambya Environmental Initiative, ababeera mu Zooni ya Mubiru e Nsambya. Bano abakulemberwa mukyala Alice Kalenda baasalawo okukuuma obutonde bw’ensi n’okutumbula eby’obulamu n’eby’enfuna, ngabakungaanya kasasiro nebakolamu amanda (briquettes).

Bannalotale nga bali e Nsamba ewa Cardinal Waamala
Oluvannyuma y’agenze mukigo ky’e Nsambya n’atongoza ekyuma eky’amasannyalaze, Bannalotale b’e Nsambya kyebaabagulidde, ngabakolaganira wamu n’abakulembeze b’ekiigo ky’e Nsambya.
Gavana Ddamulira y’asiimye nnyo Roraty Club of Nsambya Premium, gyeyagambye nti wadde y’akaweebwa ccata, naye ekoze ebintu ebintu eby’amaanyi, ebikyusizza obulamu bw’abantu, naddala mukutaasa obutomde bw’ensi, okutumbula eby’obulamu, n’okulwanyisa obwavu.
Y’asabye bammemba bongere okwetekamu omutima omugabi, nokukolera awamu emirimo nga ttiimu.
Muntambulaze zonna, Gavana Ddamulira y'awerekeddwako mukyalawe Canon Alice Ddamulira, Country Chair Yusuf Kigoye, Assistant Governor Rita Baraka, Rotarian Florence Malinga, ne Rotarian Fr. Simon Peter Musumba.