Amawulire

Abagambibwa okusaba omulwadde enguzi mu dwaaliro lya Gavumenti e Luweero bakwatiddwa

Abakozi mu ddwaaliro ly'e Luweero General hospital babiri bakwatiddwa ku bigambibwa nti baasabye omulwadde enguzi ya mitwalo 70 okumuyambako okufuna obujjanjabi.

Abagambibwa okusaba omulwadde enguzi mu dwaaliro lya Gavumenti e Luweero bakwatiddwa
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abakozi mu ddwaaliro ly'e Luweero General hospital babiri bakwatiddwa ku bigambibwa nti baasabye omulwadde enguzi ya mitwalo 70 okumuyambako okufuna obujjanjabi.

Kyaddiridde obutabanguko mu maka , omukyala n'atuusibwako ebisago ku kugulu nti bwe yagenze mu ddwaliro ne bamusaba enguzi nti kyokka mwannyina n'asobola okufuna emitwalo 30 ze yawadde omukozi era n'atemya ku poliisi n'ekwata babiri.

Omwogezi wa poliisi mu Savanna, Sam Twineamazima, agambye nti okubuuliriza, kugenda mu maaso nga bano bombi, bakuumirwa ku poliisi e Luweero.

Tags:
Gavumenti
Luweero
Kusaba
Nguzi
Ddwaaliro
Kigambibwa
Mulwadde