Amawulire

Oludda oluwaabi lumazeeyo abajulizi baalwo mu misango egivunaanibwa Sipapa ne mukyala we

Sipapa ng’amannya ge amatuufu ye Charles Olimu, avunaanibwa wamu ne mukazi we Shamirah Nakiyemba era bombi babadde mu kkomera okuva mu 2022 lwe baakwatibwa.

Oludda oluwaabi lumazeeyo abajulizi baalwo mu misango egivunaanibwa Sipapa ne mukyala we
By: Margaret Zalwango, Journalist @New Vision

OLUDDA oluwaabi lumazeeyo abaajulizi baalwo mu misango egivunaanibwa Sipapa ne mukyala we.

 

Sipapa ng’amannya ge amatuufu ye Charles Olimu, avunaanibwa wamu ne mukazi we Shamirah Nakiyemba era bombi babadde mu kkomera okuva mu 2022 lwe baakwatibwa.

Sipapa ne mukazi we mu kkooti.

Sipapa ne mukazi we mu kkooti.

Abawaabi ba gavumenti, Edward Muhumuza ne Timothy Amerit olwaleero bafundikidde obujulizi bwabwe mu musango oluvannyuma lw’okuleeta abajulizi 21 okulumiriza Sipapa ne Shamirah ku by’okumenya ennyumba ya bannansi ba Sudan ne babba ssente n’ebintu ebikalu okuli amasimu ne laptop.

 

Oludda oluwaabi lufundikidde n’obujulizi bwa ofiisa wa poliisi D/AIP Rauben Byaruhanga eyakuliramu okwaza amaka ga Sipapa e Buwate ewagambibwa nti waasangibwayo essimu za bannansi ba Sudan ssaako ebintu eby’enjawulo ebigambibwa nti baabigula ku ssente ezaali zibbiddwa nga byonna kigambibwa nti okubikola baasooka kukuba abaali mu maka gano ebiragala ebitamiiza ne bawunga olwo ne bababba.

 

Byaruhanga era abuulidde kkooti nti mu maka ga Sipapa baasangayo ttivvi ekika kya Samsung nga mpya kyokka nga lisiiti yaayo eraga baagigula nga August 31, 2022 nga waakaayita ennaku ntono nga bakoze obwakkondo mu maka g’aba Sudan.

Omuserikale ng'aggya empingu ku sipapa nga yaakatuuka mu kkooti.

Omuserikale ng'aggya empingu ku sipapa nga yaakatuuka mu kkooti.

Ayongeddeko nti era waliyo emmotoka n’ebintu eby’enjawulo ebyali biri mu mbeera y’okubuzaabuza ekituufu ekibakwatako. Ebyo abyogedde abuuzibwa ebibuuzo okuva mu munnamateeka Suzan Sylvia Wakabala awolereza Sipapa.

 

Baabadde mu maaso g’omulamuzi Mike Elubu owa kkooti mu Kampala n’ategeeza nti ajja kuwa ensala ye oba Sipapa ne Shamirah balina omusango gw’okwewozaako era ensala ajja kugiyisa ku mutimbagano nga September 21, 2026.

 

Yagambye nti olwo bajja kutandika okwewozaako nga October 11, 2026 bwe batyo bazziddwa e Luzira gye bakuumirwa.

 

Oludda oluwaabi lugamba nti mu kiro ekya nga August 29, 2022 ffamire ya Arok nga bali mu maka gaabwe e Buziga Makindye baazuukuka ne bazuula ng'ebintu byabwe okuli amasimu, laptop n’ebirala nga byabbiddwa nga nabo teebeewulira bulungi.

 

Sipapa avunaanibwa obwakkondo ssaako okwozesaamu ssente enzibe nga kigambibwa nti nga August 30,2 022 e Nateete ku T.I PRO Audio International Uganda n’ekigendererwa eky'okubuzaabuza ensibuko ya ssente za ddoola emitwalo 20, yaziwa Zhen Hua Hong Jie international Trading Co mu bbanka ya Citibank ng’ayagala bamugulire ebyuma ebikuba omuziki ng’ate akimanyi bulungi ssente zino za buzzi bwa misango.

 

Bano era kigambibwa nti baabuzaabuza ensibuko ya ssente obukadde 110 nga August, 2022 n’emmotoka Jeep Wrangler ng’akimanyi era ng’alina ensonga okukimanya nti za buzzi bwa misango.

Tags:
Misango
Sipapa
Kuvunaanibwa
Bajulizi
Ludda luwaabi
kuvunaana