Dayirekita w’ebibiina by’enkola Enkatoliki mu ssaza ekkulu ery’e Kampala, Msgr. Charles Kasibante asiimye Bannakibiina kya Yuda Taddeo Omutuukirivu olw’okutuukiriza obulungi obutume bwabwe, n’okusabira Klezia w’Omukama ngabayita mu Mutuukirivu ono.
Y’abasiimye mu ngeri ey’enjawulo olw’okwettanira okusoma Novena ya Yuda Taddeo, gyeyagambye nti enyweza okukkiriza kw’oyo aba agyetabyeemu

Abaana nga basanyusa abagenyi
“Ekibiina kya Yuda Taddeo ky’ekimu kubibiina by’enkola Enkatoliki eby’amaanyi mu ssaza lyaffe lino ekkulu ery’e Kampala, mu Uganda, nemukitundu kino eky’obuvanjuba bw’Africa. Kirungi nnyo okwetaba mu ssaala za Novena ya Yuda Taddeo, kubanga bwetugyetabamu, okukkiriza kwaffe kunywera, era twongera okusemberera Omukama. Tufuuka Abakristu abatasagaasagana , nebwetuba mu ssanyu, nebwetuba munnaku.”

Kkwaya ng'eyimba mmisa
Y’abadde ayigiriza mu mmisa ey’okuggalawo Novena ya Yuda Taddeo ey’omulundi ogw’okubiri. ku kiggwa kya Yuda Taddeo eky’eggwanga lyonna, e Naggulu (mu Division y’e Nakawa), ku Ssande nga July 12 (2026).

Abantu nga bawaayo ebirabo
Kasibante oluvannyuma y’akubirizza Banna Yuda Taddeo n’Abakristu bonna okusabira ennyo amaka gatebenkere mu mirembe n’okwagalana, olwo n’ensi esobole okutebenkera. Yabasabye era bafube okwagazisa abavubuka ekkula ly’obufumbo, basobole okubwetwalira awatali kutya ngabakyali bato.
Bwanamukulu w’e Naggulu, era ng’ayakulira obutume bw’ekibiina kya Yuda Taddeo mu Uganda, Fr. Joseph Mary Bbuye yeebazizza bonna abalina kyebakoze okutegeka Novena eno.
Yeebazizza n’abo bonna abasonze ensimbi z’okuzimba Klezia y’ekigo kino empya.

Margret Nantongo Zziwa n'ali mu mmisa
Ssabakristu w’e Nagulu, Rt. Hon. Dr..Margaret Nantongo Zziwa, n’omuwandiisi w’ekibiina kya Yuda Taddeo, Winnie Namatovu, nabo omukolo guno baagwetabyeeko era nebeebaza bonna abaaguwagidde, n’abo abaasonze ensimbi ez’okuzimba klezia empya..
Omukyala Grace Kaliisa ey’akiikiridde ssentebe w’olukiiko oluzimbi (Michael Ssebalu Ky’ompitira), y’akubiriza Abakristu okwongera okusonda ssente z’okumaliriza klezia empya.
Mu mmisa eno, aba kkwaya ya St. Kizito eyavudde mukigo ky’e Nsambya, y’eyakulembeddemu okuyimba.