Ebifaananyi

Police ye Naggalama enunudde Ente 2  ebiteberezebwa okubeera enzibe.

Police ye Naggalama enunudde Ente 2  ebiteberezebwa okubeera enzibe.

Ente ezinunuddwa
By: Sulaiman Mutebi, Journalist @New Vision

Police ye Naggalama enunudde Ente 2  ebiteberezebwa okubeera enzibe. 

Ente zino zinunuddwa mu kiro ekikeesezza leero ku saawa munana ogw'ekiro abatuuze ku kyalo Nkoko mu muluka gwe Kakukulu mu gomboloola ye Kasawo mu district ye Mukono batayaiza emmotoka ye kika Kya Noah namba UA 361AW ne basangamu Ente 2 ze batannazuula bananyini zo. 

Ababadde mu mottoka bagisuddewo ne badduka. Abatuuze bagye ente mu mmotoka naye emmottoka ne yononeka . Ente n'emmotoka bikuumibwa ku Poliisi ye Nagalaama. Bateberezza nti ente zino zabiddwa okuva mu district ye Kayunga. Poliisi ekola butaweera okuzuula nanyi nte zino.

Tags: