Ebifaananyi

Omwepisikoopi w'e Masaka Serverous Jjumba atongozza ebyasalibwawo sinodi ey'omukaaga

Omwepiskoopi w’essaza ly’e Masaka, Serverus Jjumba alangiridde era n’ayisa mubutongole ebiteeso eby’ayisibwa olukiiko ttabamiruka (Sinodi) olw’essaza lino olw’omulundi ogw’omukaaga. Olukiiko luno lwayitibwa Omwepiskoopi Jjumba, mu 2024, ng’ayagala Abakristu bekkaanye embeera eriwo, n’eby’etaago by’abantu eby’omwoyo n’eby’omubiri, ate bawe ebirowoozo byabwe kungeri ki emirimo gy’Obutume gyegyisaanidde okukolebwa mu. Ssaza.    

Faaza Severous Jjumba ng'atongoza enkola ya Sinodi
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Omwepiskoopi w’essaza ly’e Masaka, Serverus Jjumba alangiridde era n’ayisa mubutongole ebiteeso eby’ayisibwa olukiiko ttabamiruka (Sinodi) olw’essaza lino olw’omulundi ogw’omukaaga. Olukiiko luno lwayitibwa Omwepiskoopi Jjumba, mu 2024, ng’ayagala Abakristu bekkaanye embeera eriwo, n’eby’etaago by’abantu eby’omwoyo n’eby’omubiri, ate bawe ebirowoozo byabwe kungeri ki emirimo gy’Obutume gyegyisaanidde okukolebwa mu. Ssaza.

Saverous Jumba oluvannyuma lw'okutongoza sinodi

Saverous Jumba oluvannyuma lw'okutongoza sinodi

Okuva olwo, waatekebwawo emisomo egy’enjawulo agy’aweebwa Abakristu okutuukira ddala wansi kubutabi (oba obubondo), era Abakristu bano nebaweebwa omuksa okuwaayo ebirowozo byabwe, eby’akungaanyizibwa era nebiteesebwako mu Sinodi eyatuula mu Kitovu Sports Arena nga November 2-9, omwaka oguwedde (2025).

Okusinziira ku Cansala w’essaza lino, Fr. Dr. Jude Jjuuko, Sinodi yeetabwamu abakiise nga 300, abaalondebwa n’obw’egendereza okuva eyo mu bigo, sso ng’ate kwaliko n’abakugu mu bintu eby’enjawulo, okugeza abasawo, abasomesa, abakulembeze b’ennono, bannabyabufu, abaana abato, n’abalala, Ebibiina by’Obunnaddiini ng’ekya Bannakaooli, n’ekya Bannabiikira b’e Bwanda, nabyo byakiikirirwa.

Dm 4

Dm 4

Ebyayisibwa abakiise mu Sinodi byonna by’akwasibwa Omwepiskoopi Serverus Jjumba, n’addamu okubyekenneenya, okubyebuulirirako, n’okubitereeza obulungi, ate oluvannyuma navaayo n’entereeza ennungamu essaza kwerigenda okutambulizibwa.

Entereeza eno eyalambikiddwa obulungi mukitabo, Omwepiskoopi Jjumba yagyitongolezza mu mmisa gy’eyayimbidde mu Klezia Lutikko e Kitovu, ku Lwokubiri nga September 15 (2026). Ngakabonero ak’okutongoza, Munsennyere Jjumba yasaze akawuzi (ribbon) akaabadde kasibiddwa kukitabo ekyateekeddwamu  eby’ayisibwa Sinodi, n’akiteekako omukono, ate oluvannyuma n’akikwasa abamu kubaakiika mu Synod, okw’abadde Ssenkulu wa Bannakarooli Bro. Hillary Kazoola, Ssabakristu w;esaza Regina Kitaka, n’abaala, ngabano beebaakiikiridde Abakristu bonna.

Munsennyere Jjumba y’alonze akakiiko ak’enjawulo, akagenda okusomesa Abakristu ebyo byonna ebiri mu kitabo kya Sinodi. Yakkaatiriza nti mumywezi sesatu ejijja, Abakrisu bagenda kuba ngabasomeseddwa, ebyasalibwawo bino, ate bitandike okuteekwebwa mu mkola mu mwezi gwa Noember,

“Oluvannyuma lw’emyezi esatu okuva kati, bino ebyayisibwa bye tujja okutambulirako. Eby’emabega byonna ebikontana n’entereeza eno bijja kuba bidibiziddwa,” Munsennyere Jjumba bweyategeezezza.

EBIKULU MUNTEREEZA ENO NGABWEBIRABIKIDDWA MU KITABO KYA SINODI

Sinodi eno ,eyakubirizibwa Fr. James, Ssendege eyongera okukakasa Enjigiriza ya Yezu Kiristu nga bweyagirekera Abatume. Entereeza empya essa nnyo essira, era enyweza nnyo  enkola ey’okutambulira awamu, omugenzi Paapa Francis gyeyayagaliza ennyo Klezia. Abakkiriza bonna, kweggamba Abasaserdootu, Bannaddiini, n’Abakrisu Obukristu, bakubirizibwa okutambulira awamu, n’okukolagana obulungi mubutume bwabwe bonna bwebalina obw’okusaasaanya Evanjiri, ate nokuyambagana ng’aboluganda, mubizibu byabwe, mu ssanyu nemunnaku, ate nemunsonga zokwekulaakulanya.

Sinodiey’omukaaga era y;assizza nnyo essira, n’okwongera okunyweza enkola ey’Obutabi (obubondo) kubanga ebbanga lyonna yeeraze ngay’ekyakyira okuba ey’amaanyi mukutuukiriza obutume bw’Omukristu n’ebigendererwa ebirungi eby’Eklezia Katolika.

Munsennyere Jumba enkola y’Obutabi n’okutambulira awamu naye y’agyitaddeko nnyo essira munjigirizaaye.

Faaza Jumba ne bannaddiini abalala

Faaza Jumba ne bannaddiini abalala

“Nga abakkiriza tufube okubeera obumu era tutambulire wamu. Tuleme kwabulira bannaffe abakaluubiriddwa. Bannaffe abanyoleddwa tunyolerwe wamu nabo, tubatuseeko ekisa n’okusasaasira, era tubayambe.”

Omubaa gwa Synod ey’omukaaga gugamba nti: Nze Muzabbibu, mmwe matabi.

Mumukolo guno gwegumu, Munsennyere Jjumba y’aweereddemu abayizi 300 Ssakramentu lya Confirmansio n’abakalaatira obukunywerera mu Ddiini nga tebasagaasagans, nebwebaba basanze ebisoomoozo eby’amaanyi, kubanga Klezia Katolika mwebaakakasiddwa y’erina enjigiriza ennungi, era y’ewa obulamu obujjuvu ng’eyita mu Masakramentu.

Omukolo guno gwegumu Abakristu kwebaakulizza olunaku lwa Maama Maria ow’Ebiibonoobono, omulwolereza wa Lutikko ye Kitovu nessaza ly’e Masaka.

Kinnajjukirwa nti Sinodi y’essza ly’e Masaka eyasembayo yaliyo mu mwaka 2003, ngayayitibwa Omwapisikopi omugenzi, Dr. John Baptist Kaggwa.

Tags: