Ebifaananyi

Poliisi egumizza abatuuze b’e Masaka ku ttemu

POLIISI etandise okufeffetta abali emabega w’ettemu mu bitundu by’e Masaka eryewanisizza abatuuze baayo emitima.

Mwesigwa ng’akwasa Malik Kaliisa ekirabo okusiima muganda we Amb. Farid Kaliisa eyazimbye poliisi y’e Makulubita.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

POLIISI etandise okufeffetta abali emabega w’ettemu mu bitundu by’e Masaka eryewanisizza abatuuze baayo emitima.
Kiddiridde abatemu okutta abantu 3 mu bbanga lya wiiki emu nga bonna basaliddwaako n'ebitundu by’omubiri eby’enjawulo ekiviiriddeko abatuuze okweraliikirira.

Akulira ebikwekweto mu poliisi, Frank Mwesigwa yagambye nti poliisi mu Masaka baatandise okunoonyereza ku bali emabega w’ettemu lino era nga waliwo ebyeyambisibwa bye baazudde.
“Tusaba abantu e Masaka baleme kweraliikira kuba poliisi erwana okulaba ng’abeenyigidde mu ttemu lino bakwatibwa embeera edde mu nteeko,” Mwesigwa bwe yategeezezza bwe yabadde e Makulubita mu kuggulawo poliisi eyazimbiddwa.
Yagambye nti abaserikale bakola misana na kiro mu kunoonyereza ku mulambo ogumu ogwasangiddwaako akapapula akali layini z’essimu nga nninyizo baamuggya mu kitundu ky’e Sanga Kazo ng’okutegeera kino baakubye emu ku nnamba eziri ku layini ye. Yategeezezza nti poliisi ng’eyita mu kitongole kya Flying Squad eriko abantu 2 be yakutte okuyambako mu kunoonyereza era ng’ebikwekweto bikyagenda mu maaso.
Ettemu eddala e Masaka lyabadde Mityebiri mu Kyotera abatuuze bwe baagudde ku mulambo gw’omusajja nga gwasaliddwaako omutwe ng’ekiwuduwudu kisuuliddwa okumpi n’amaka ga minisita omubeezi ow’ensonga z’ebweru Kyeyune Harunah Kasolo.
Mu ngeri y’emu, ku kyalo Samaliya mu Divizoni ya Nyendo Mukungwe, abatuuze baagudde ku mutwe gw’omuntu kumpi ne poliisi y’e Kako n’omulambo gw’omukazi omulala baagusanze Butale mu ggombolola y’e Buwunga ku lusozi lw’e Mazinga

Tags: