ENSIMBI 1,325,200,000/- ze zaasondeddwa ku mulimu gw’okuzimba ekizimbe 'Archbishop Kiwanuka Empowerment Centre' ekiteereddwa ku Lutikko y’e Kitovu e Masaka.
Zino zaavudde mu kijjulo ekyategekeddwa ku Sheraton Hotel mu Kampala nga Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga ye yabadde omugenyi omukulu.
Mayiga yasinzidde ku mukolo guno n’asaba abantu bulijjo okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe ku nsi nga balabira ku mugenzi Ssaabasumba Joseph Kiwanuka Nakabaale eyaleka omukululo mu ssaza ly’e Masaka ne mu Ssaza Ekkulu erya Kampala.
Mayiga yanokoddeyo eky’okubeera nti Ssaabasumba Kiwanuka ye musumba Omuddugavu eyasooka ku lukalu lwa Africa era obuwereeza bwe obulungi bwasikiriza Abaddugavu bangi okuweereza Klezia.
“Singa Joseph Kiwanuka teyafaayo ku byobulamu n’ebyenjigiriza n'okulwanyisa obwavu mu bantu, osanga abantu Klezia tebandigirabyemu muzinzi. Abasumba abamuddiridde bataddewo ebituyamba okumujjukira nga bwe tuzze tumuganyulwamu. Awo tusaanye okukola ebyo bye tuteekeddwa okukola mu bulamu Katonda bw'atuwadde,” Mayiga bwe yagambye.
Ebimu ku bijjukirwa ku Ssaabasumba Kiwanuka, kwe kukkiriza obukkiriza mu Bakristo, okuzimba amasomero n’okutumbula ebyenjigiriza, amalwaliro, emirimu omuva ensimbi mu maka okuli emmwaanyi, obwegassi, bwe yatandikawo ekibiina ki 'Bwavu mpologoma' n’ebirala.
Ssaabasumba Augustine Kasujja nga ye mubaka wa Paapa mu Belgium eyawummula, ye yakiikiridde Ssaabasumba w’essaza Ekkulu erya Kampala, Paul Ssemogerere n'ayogera ku mugenzi ng’eyakola ennyo okuzimba Klezia ng’atandikira mu kutendeka Bafaaza.
Ye Omusumba w’essaza ly'e Masaka, Bp. Serverous Jjumba yagambye nti, baagala okuzimba ekizimbe ekinaawangaala emyaka egisoba mu 200 ate kiteekebwemu ebintu ebinajjukizanga buli anaakiyingiramu ebyo ebyakolebwa Ssaabasumba Kiwanuka. Yeebazizza bonna abeetabye mu kusonda kuno.
Abantu baawaddeyo okuli Katikkiro w'Ekika ky'Engabi Ennyunga, Steven Muyunga eyawaddeyo obukadde 20 ku mulimu guno, Pius Mugalaasi ne ffamire ye obukadde 15 ate abooluganda lwe abalala obukadde 35, bbanka ya Centenary obukadde 40 n’abalala bangi