ABANTU mukaaga bafiiridde mu bubenje obwagudde mu bitundu eby’enjawulo
n’abalala 12 ne bagendera ku bisago.
Abana nga bonna basajja baafiiriddewo ate abalala mwenda ne baddusibwa mu ddwaliro e Nakasongola ngabapooca n’ebisago oluvannyuma w’ebidduka mwe
baabadde batambulira okugwa ku kabenje ku luguudo lwa Kampala- Gulu mu kiro ekyakeesezza Lwokubiri ku kyalo Walusi mu kabuga ke Mogyera.
Abalala ababiri bafiiridde Kabalagala ku luguudo lwa Kiwempe oluvannyuma lwa mmotoka ttaano okutomeregana eggulo (Lwakubiri) ku ssaawa 3 n’edakika 20 ez’oku makya abasatu ne basimattuka n’ebisago.
Emmotoka ez’enyigidde mu kabenje kano kuliko loole Isuzu UAW 675F, Fuso UA 547BK, Volvo UBM 973Y, Toyota Super Custom UBB 711Z, ne Boxer UFT 619Z nga kano katwaliddemu n’ekizimbe ky’ebyobusuubuzi Omwogezi wa poliisi y’ebidduka mu ggwanga SP Michael Kananura yakakasizza bubenje buno n’ategeza ng’ak’e Kabalagala
bwe kavudde ku Isuzu eyabadde etisse ebizimbisibwa ng’eva e Lukuli edda ku luguudo
lwa Kiwempe bwe yagaanye okusiba n’esaabala emmotoka endala ezaagibadde mu maaso ne zitomeregana.
Eno yazingiddemu ne boda boda eyabaddeko abantu babiri abaabadde bagikulembedde
era gye byagweredde ng’omugoba wa boda boda ne ddereeva wa Isuzu bafiiriddewo
n’abantu abalala basatu ne basimatuka n’ebisago nga bano baddusiddwa mu ddwaaliro e Mulago.
Akabenje k’e Migyera kabaddemu emmotoka satu okuli Mercedes Benz CGO 0778AC 07 eyabadde evugibwa Hidon Muhindo, Toyota Hiace UA 154FQ nga omwenda baalumiziddwa mwe baabadde ne Isuzu box body UAL 445H, eyabadde evugibwa Edward Nsubuga. Kyazuuliddwa nti akabenje okugwawo kyavudde ku mmotoka CGO 0778AC 07 eyabadde efiiridde mu luguudo ekyavudde Toyota Hiace UA 154FQ eyabadde eva e Gulu ng’edda e Kampala ng’ewunyuka ng’akaweewo okwekanga Isuzu Box body UAL 445H eyabadde eva e Kampala ne zambalagana olwo Toyota Hiace n’esibira mu loole eyabadde efiiridde ku kkubo.