Ebifaananyi

Obubonero kw’olabira wayalingi y’emmotoka eriko obuzibu

EBIDDUKA naddala emmotoka bifuna obuzibu nga buva ku wayalingi waabyo okuba nga tateredde bulungi, nga kino kireetera ekidduka okubeera mu mbeera eyeetaaga okukanika era singa omuntu takitereeza mu bwangu kireetera ekidduka ekyo okwongera okufa.

Makanika nga yeekebejja emmotoka.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

EBIDDUKA naddala emmotoka bifuna obuzibu nga buva ku wayalingi waabyo okuba nga tateredde bulungi, nga kino kireetera ekidduka okubeera mu mbeera eyeetaaga okukanika era singa omuntu takitereeza mu bwangu kireetera ekidduka ekyo okwongera okufa.
Dan Kato, makanika agamba nti, omuntu waabulijjo kizibu okulaba nti, wayalingi y’emmotoka erina obuzibu era ebiseera ebisinga abantu wayalingi bwe yeekyanga basooka kulowooza nti, bintu birala bye byonoonese.

Waliwo ebintu kw’oyinza okulabira nti, wayalingi erina obuzibu nga muno mwe muli :
l Singa okoleeza emmotoka akataala akalaga woyiro ne kasigalako kino kya bulabe era kyandibadde kirungi n’ogizikiza. Kabeera kakulaga nti, woyiro talinnya bulungi mu yingini era bw’otagizikiza mu bwangu yingini ekuba.
l Akataala ka ABS bwe kasigala nga kaaka kino kitegeeza nti, emmotoka esobola okubeera nga erina obuzibu ku nkola y’ebiziyiza by’emmotoka oba obuzibu nga buli ku ngeri emmotoka gy’ekyagingamu.
l Emmotoka ya Automatic okubeera nga tekyusa bulungi ggiya, kino nakyo kisobola okubeera nga obuzibu buva ku wayalingi ya mmotoka.
l Singa emmotoka egaana okwaka kibeera kitegeeza nti, erina obuzibu ku wayalingi.
l Emmotoka okucamuka kiva ku bintu bingi naye nga n’ekya wayalingi mwe kigwa okugeza ffaani bwe ziba tezikola kitegeeza wayalingi y’ebeera eriko obuzibu.
l Endabirwamu okubeera nga tezitambula bulungi okugeza nga tezambuka oba okukka nakyo kibeera kizibu kya wayalingi.
l Emmotoka okuzikirazikira nakyo kiraga nti, wayalingi erina obuzibu. Nga wano obeera olina okugitwala mangu ewa makanika n’agikanika.
l Emmotoka okupipirira ku luguudo nakyo kizibu ekiva ku wayalingi nga teteredde. Kazibwe agamba nti, ebiseera ebisinga emmotoka zipipira oli n’alowooza nti, eseeredde naye nga si bweguli.
l Emmotoka yo bw’ebeera nga ya mwaka mupya (new model) okuva ku 2008 n’okudda waggulu bw’ekaluba siteeringi nakyo kikulaga nti, emmotoka yo wayalingi alina obuzibu.
l Emmotoka yo bw’ebeera erina akataala konna k’erekako nga kaaka mu kisaawa kiba kiragirawo nti, wayalingi w’emmotoka yo alina obuzibu era ekisaawa kitegeerera nnyo emmotoka era kw’olabira emmotoka ky’egamba.
Mmotoka eringa muntu nti, bw’efuna obuzibu nga tebunnasajjuka oteekeddwa okugitwala ewa makanika.

Tags: