Ebikumi n’ebikumi bya Bannakibiina ky’Omusamaria Omulungi, ab’essaza ekkulu ery’e Kampala beeyiye mu Klezia Lutikko e Lubaga, ku Lwokubiri (November 17), okukuza olunaku lwabwe
Abasamaria nga basala omuziki
Bweyabadde ayigiriza, Ssabasumba Ssemogerere y’asiimye nnyo bannakibiina kyino, olw’omutima omulungi gwebalina, ogulumirirwa abanaku, n’abantu bonna ababonaabona olw’ebizibu ebiali bimu.
Abasamaria nga bali ne ssaabasumba
Y’asabye Abkristu ne Bannauganda bonna okuba n’omutima ogw’ekisa era omusaasizi, n’anenya nnyo abantu abamu abalina ensimbi n’obuyinza, abakukusa abaana abato okuva e Karamoja, nebabaleeta mu kibuga, nebabakozesa obuddu obw’okusabiriza ssente, ngatebafuddeeyo kubulumi nokubonaaboona kwebayitamu nga bali kunguudo.
Abakristu bonna y’abasabye bateeke okukkiriza kwabwe mubikolwa ngabayamba abali mubwetaavu, n’okukolera abalala ebikolwa eby’ekisa awatali kutunuulira ggwanga lyabwe, enzikiriza yaabwe, oba ebitundu gyebasibuka.
Akulira ekitongole ky’Abasamaria n’Obutume obw’Amakomera, Mukyala Annet Katende y’ategeezeeza nti oluvannyuma lw’okulambula ebigo 61, baakizuula nti abantu bangi basula bubi, ssonga n’abamu tebalina webasula, kwekuteekawo kkampeyini y’okunoonyeza abantu 2,000 emifaliso, amasuuka, nebulangiti, mu weeki y’ousamaria Omuungi.
Y’ategeezezza nti Obutume Bw’Omusamaria Omulungi bwa buli Mukristu, era nga omulimo gwabwe kwekuyamba Abakristu okutuukiriza obutume obwo.
Y’alaze okusoomoozebwa okw’enjawulo kwebalina, okugeza omuwendo omunene ennyo ogw’abali mu bwetaavu, n’abaami bangi okwesamba obutume buno. Y’ategeezezza nti bagenda kussa nnyo essira kuky’okusikiriza abaana n’abavubuka okumaya obuungi, okwenyigira mubutume buno, busobole okusigalawo gyebujja.
Gf 84
OMUMYUKA WA PULEZIDENTI NAYE ABASIIMYE
Omumyuka wa Pulezidenti Jessica Alupo, ey’abadde omugenyi omukulu, naye y’asiimye nnyo Abasamaria Abalungi olw’okussa akaseko ku matama g’abanaku, okuzzaawo ekitiibwa kyabwe, okubazzaamu essuubi, n’okukyusa obulamu bwabwe ngabayita mukubakolera ebikolwa eby’ekisa.
Y’asiime Klezia Katolika olwokkwatizaako gavumenti ng’eyita mukutumbula eby’enjigiriza, eby’obulamu, okukulaakulanya abantu, n’okukuuma obutonde bw’ensi, era neyeeyama nti gavumenti y’akwongera okukolagana n’abakulembeze baayo, okutuukiriza ppulogulaamu zaayo, naddala ezo ez’okutumbula embeera z’abantu, n’okubajja mu bwavu.
Y’ayanjudde n’obubaka bwa Pulezidenti Museveni ne Mukyala we Janet Museveni bwebaaweerezza ab’ekibiina Abasamaria Abalungi okubakulisa, era n’ayanjula n’okuwaayo obukadde bw’ensimbi za Uganda 20, Puleidenti zeyabatonedde.
Alupo era y’ategeezezza nti Pulezidenti y’asuubizza okukwatizaako essaza kunteekateeka z’olukungaana lw’Abavubuka olw’eggwanga lyonna, olugenda okubeera ku kitebe ky’abavubuka ekya YES Centre e Nsambya, okuva nga December 7 okutuusa 12.
Basiimye Omumyuka wa Pulezidenti
Abasamaria Abalungi baawadde Omumyuka wa Pulezdenti Jessica Alupo Ssatifikeeti, ngabamusiima okubaagala n’okuwagira obuweereza bwabwe.
Abasamaria abakoze emirimo gyabwe n’okwewaayo okwejawulo nabo baweereddwa ebirabo.
Omukolo gwetabiddwako ne Ssabakristu w’essaza, Emily Kitto Mwaka, n’bamu kubammemba b’olukiiko lwe.
Oluvannyuma lwa misa, Bannakibiina baagabuddwa eky’emisana, era nebasanyusibwa abayimbi n’abazinyi okuva mu kibiina kya ne Bantu Cultural Troupe.