Nyakana atandise ekiwayi ekigoba Muhangi mu bikonde

OLUTALO wakati wa Moses Muhangi, pulezidenti wa UBF (ekibiina ekitwala ebikonde mu ggwanga), n’abamuwakanya lusitudde buto ng'entabwe eva ku kukyusa ssemateeka. 

Nyakana atandise ekiwayi ekigoba Muhangi mu bikonde
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Nyakana #Muhangi #Bikonde

Ku Mmande April 5, Muhangi yakubirizza ttabamiruka eyayisizza ennongoosereza mu ssemateeka mwe yateeredde obuwaayiro obulese ababadde beegwanyiza entebe ye nga batolotooma. Kiraabu 34 ku 47 ze zeetabye mu ttabamiruka ono.

Abeekiwayi kya Godfrey Nyakana, eyaliko pulezidenti wa UBF, baweze obutakkiriza Muhangi kubaggalira wabweru, ne bagamba nti baakuddukira mu mbuga z'amateeka ziramule. Nyakana y'omu ku baali abasaale mu kuleeta Muhangi ku bukulembeze bwa UBF.

Emma Mwesigwa ng'ayogera ne Ayasi (ku kkono). Mu ttaayi wakati ye Sembuya ne Uhuru (ku ddyo).

Emma Mwesigwa ng'ayogera ne Ayasi (ku kkono). Mu ttaayi wakati ye Sembuya ne Uhuru (ku ddyo).

Abawakanya Muhangi bamulumiriza okwagala okwekuumira mu ntebe n’okuzibira abagyegwanyiza wabweru. "Muhangi aleme kulowooza nti ebikonde bizinensi ya ffamire ye, guno muzannyo gwa ggwanga lyonna ate twaguteekako ettoffaali ddene okugutuusa weguli kati," Nyakana bwe yagambye.
Nyakana ne banne, abasooka okuwulira ebyokukyusa ssemateeka mu hhambo, baatuuza olukiiko ku Centenary Park, nga April 1, ne bayisa ekiwandiiko ekiyimiriza emirimu gya UBF okutuusa nga bamaze okufuna embalirira ya ssente zonna ezizze ziweebwa Muhangi bukya akwata nkasi mu 2018.

Muhangi

Muhangi


Mu lukiiko lwe lumu, Stephen Sembuya Magulu yalangiridde bw'agenda okuvuganya Muhangi omwaka ogujja. Paul Ayasi, Fred Kavuma ne Kenneth Gimugu bagamba nti be bayima ba UBF abatuufu.

Wabula Salim Uhuru, meeya wa Kampala Central, era nga ye pulezidenti wa UPBC (ekibiina ekitwala ebikonde bya bapulofeesono), yawadde enjuyi zombi amagezi okugonjoola ensonga zino kuba bafiiriza bazannyi.

Muhangi yagambye nti olukiiko mwe baamuyimiririzza lwabaddewo ku lunaku lwa bajega olwa April 1. Yagasseeko nti ng'oggyeeko ekyo, tebalina buyinza bumuyimiriza kuba bakyali ku kibonerezo.

Nyakana

Nyakana

Mu 2018, Muhangi yakugira Nyakana, Kavuma, Ayasi, Gimugu n'abalala, okwetaba mu kintu kyonna ekyekuusa ku bikonde okumala emyaka 12, ng'abalanga kutwala kibiina mu kkooti. "Abawagizi mbasaba obutakkiriza mu byayisiddwa ku Centenary Park. Nyakana ne banne bakkirize nti ekiseera kyabwe eky'okukulembera ebikonde kyaggwaako dda," bwe yagambye.

Wabula Bukedde bwe yayogeddeko n'abamu ku bammemba abeetabye mu ttabamiruka, beegaanyi ebyayisiddwa nga bagamba ebisinga si bye baaweereza mu kakiiko akaakulidde okukyusa ssemateeka.
Akakiiko kano kaabadde kakulirwa Sam Lukanga owa Lukanga Boxing Club, Hajji Juma Nsubuga (Kyengera), Tony Sekabira (UPDF), Mercy Mukankusi, mukyala w'omugenzi Zebra Ssenyange ne Patrick Lihanda omutendesi wa The Bombers. 

Bano bagambye nti obuwaayiro obusinga bwakukusiddwa, nga nabo baabwekanze bwekanzi. Mu zimu ku nnongoosereza, Muhangi alina obuyinza okwerondera bammemba 4 ku 9 abatuula ku lukiiko olw'oku ntikko, abamyuka be bombi, omwogezi w'ekibiina, n'akulira akakiiko akategesi k'empaka.


"Ekyokulonda omumyuka asooka tetukirinaako buzibu, wabula omumyuka owookubiri nga ye w'ebyekikugu, asaana kulondebwa ffe," omu ku bammemba ataayagadde kumwatuukiriza mmanya, bwe yannyonnyodde.


Mu lukiiko olwabaddewo nga ssemateeka tannayisibwa, aba Lukanga Boxing Club baavuddeyo batolotooma olwa bakanyama ba Muhangi okugaana Sembuya okulwetabamu. Muhangi yagambye yabadde tasobola kumukkiriza kuba UBF tebamumanyi nga ssentebe wa kiraabu eyo.