Omulanga guno gwakubiddwa Ssaabawandiisi w’ekibiina kya NRM, Justine Kasule Lumumba bwe yabadde ku kijjulo ky’okusiibulula bannamawulire Abasiraamu n’abatali Basiraamu abakolera mu disitulikiti 12 ezikola Busoga.
Omukolo gwabadde ku Jinja City Hall nga gwetabiddwaako bannaddiini n’ebikonge okuva mu Gavumenti.
Lumumba yasabye bannamawulire okwegatta balwanyise obwavu mu kifo ky’okuteekawo embeera eziyawulaayawula mu bantu.
A (5)
Ono yabasuubiza okwogera ne Pulezidenti okubatwala ku ffaamu ya Nyakana bayige okunoga ssente mu kulima n’okulunda ng’era bajja kuweebwa n’ente.
Muyanga Lutaaya yasabye bannamaulire okuddayo okusoma bongere ku buyigirize bwabwe era nga kino Kasule yakiwagidde n’asuubiza okuwa bannamawulire bbasale ku ssomero lya Muyanga Lutaaya erisangibwa mu kibuga Jinja.
Shamir Byakika eyakuliddemu okutegeka ekijjulo kino yasabye bannamawulire okwegatta kyokka ne yeekokkola enkwe n’okulumagana ebisusse mu baamawulire.