Enteeseganya wakati wa Mao ne Ssekitto nga zirimu n’abamu ku basuubuzi ab’amaanyi mu Kampala zimaze omwezi mulamba mu kyama era waliwo ekyatuukiddwaako mu wiiki ewedde nga kati Mao ateekateeka okulangirira Ssekitto nga mmemba wa DP amukwase ttikiti y’ekibiina okuvuganya ku bwa Loodi Meeya.
Ensonda mu DP zaategeezezza nti okuva omuyimbi Joseph Mayanja amanyiddwa nga Chameleone, DP gwe yali esibiddeko olukoba okuvuganya ku bwa Loodi Meeya lwe yabaabulira ne yeegatta ku kibiina kya National Unity Platform (NUP).
Mao abadde atakula omutwe ng’anoonya omusajja enjasabiggu asobola ‘okunywesa ‘ Lukwago amazzi mu kalulu k’obwa Loodi Meeya okutuusa lwe baamuzingiridde Ssekitto.
Ssekitto amanyiddwa nnyo mu byobusuubuzi n’ebyenfuna kyokka n’ebyobufuzi abitegeera. Era mu 2016 yalina ekirowoozo ekyesimbawo ku bubaka bwa Palamenti okukiikirira Bamunanika kyokka n’abiggyamu enta ku ssaawa envannyuma.
Mao yasoose kutuma babaka ab’enjawulo eri Ssekitto naddala basuubuzi banne okumumatiza akkirize ttikiti ya DP ku bwa Loodi Meeya era ababaka bwe baddizza Mao amawulire nga galaga nti Ssekitto alabika ajja kukkiriza, Mao naye kwe kumukubira essimu ne bakkaanya okusisinkina maaso ku maaso .
Ensonda zaategeezezza nti Mao yennyini y’awomye omutwe mu nteeseganya zino ng’ali n’akola nga Ssaabawandiisi wa DP, Dr. Gerald Siranda n’abalala nga ssentebe wa DP mu Kampala, Farouk Ssentongo Nambaale era baasoose kutuukirira lukiiko lwa KACITA ne balusaba lukkirizise Ssekitto okwesimbawo.
Omwogezi wa ofiisi ya pulezidenti wa DP, Fred Mwesigwa yategeezezza Bukedde nti, mu kiseera kino DP eri mu kwogerezeganya n’abantu bangi okulaba nga beegatta ku kibiina n’abamu abaasangiddwa nga bammemba kyokka nga babadde tebeesimbawo, baakubasikiriza beesimbewo bongere amaanyi mu kibiina.
Ensonda mu DP zaategeezezza nti Mao ne Ssekitto baakasisinkana emirundi egy’enjawulo era balina we batuuse nga kati kisuubirwa nti Mao agenda kulangirira mu bbanga ery’okumpi kubanga n’ekiseera ekyokugaba tikiti ez’ekibiina kigenda kuggwaayo.
Bukedde bwe yatuukiridde Ssekitto yategeezezza nti abiwulira nti waliwo abamwagaliza ekifo ekyo kyokka ajja kutuuza bannamawulire ababuulire bw’anaaba alina ky’asazeewo ku nsonga eyo kyokka mu kiseera kino talinaawo ky’ayosobola kubyogerako.
Akulira DP mu Kawempe, Munnamateeka Erias Luyimbazi Nalukoola yategeezezza Bukedde nti mu kiseera kino, Mao atadde essira mu kuzimba DP ng’anoonya abantu ab’omuzinzi naddala abayivu okutwala ebifo ebyobukulembeze .
LWAKI MAO ALEESE SSEKITTO
Musuubuzi omugundiivu, alina ddiguli mu by’obusuubuzi okuva e Nakawa era omuganzi mu basuubuzi okwetooloola Kampala ayogera eddoboozi lyabwe ne lituuka.
Ate nga bazze boogera nti abasuubuzi abamaduuka tebakkaanya na Lukwago kubanga y’awagira abatembeeyi okusigala ku nguudo ekintu ekikosa abaamaduuka.
Aba DP balowooza nti olw’okuba Ssekitto afaananya ebintu abiwerako ne Lukwago okuli eddiini n’eggwanga, kigenda kuyamba okussaawo okuvuganya okw’amaanyi.
Ssekitto yasoma ebyenfuna ate ng’aludde mu busuubuzi amanyi ebizibu byabwe ebibanyiga okuva ku misolo gye basasula n’ebisale by’obupangisa ebibaleega.
ABAAGALA EKIFO ABALALA
DP egenze okuperereza Ssekitto nga Loodi Meeya, gye buvuddeko ebadde esibidde ku Joseph Mayanja (Chameleone) kyokka aba DP Block bwe baabadde bagenda mu NUP naye mwe yagendedde.
lLukwago yamaze dda okuggyayo empapula mu kibiina kye ekipya ekya FDC.
lLatiff Ssebaggala, ng’agenda kujjira mu NUP era essaawa yonna waakulangira mu butongole.
lNabilah Naggayi
l Hajji Naser Sebaggala
lDaniel Kazibwe (Rag Dee),
lAhmed Boogere Masembe ne Godfrey Nyakana Amooti. Bano balinze kamyufu ka NRM.