Lwalilwa eyaakava ku buvune ataasizza Vipers ku Onduparaka

HALID Lwalilwa abadde yaakasubwa emipiira esatu egya liigi, y'aggye Omuzungu Roberto Oliviera ku kaguwa nga bamegga Onduparaka e Kitende. 

Lwalilwa eyaakava ku buvune ataasizza Vipers ku Onduparaka
By Ismail Mulangwa
Journalists @New Vision
#Halid Lwalilwa #Vipers #Onduparaka #Kitende

Ono ye kapiteeni wa Vipers wabula abadde yaakasubwa emipiira esatu olw’obuvune era ggoolo ye yayambye nnyo ttiimu ye okuvuganya ku kikopo kya sizoni eno oluvannyuma lw’okukola amaliri ne Express wiikendi ewedde. 

Muhammad Shaban yatunuulizza abaali bakamaabe omudumu era obwedda aduumira bazannyi banne okufiirawo okulaba nga bajja akabonero e Kitende ekitaasobose. 

Vipers yasigadde mu kyakubiri n’obubonero 10 so nga yo Onduparaka eri ku butaano. 

Vi

Vi

Vipers SC: 

Fabien Mutombora (GK), Paul Willa, Aziz Kayondo, Livingstone Mulondo, Halid Lwaliwa, Siraj Ssentamu, Bobosi Byaruhanga, Bright Anukani, Yunu Ssentamu, Ibrahim Orit, Ceaser Manzoki. 

Onduparaka FC : 

Michael Kagiri (GK), Gasper Adriko, Rashid Okocha, Isaac Okello, Dudu Ramathan, Rashid Yakini, Ivan Okello, Nathan Oloro, Safi Mansoor, Muhammad Shaban, James Jarieko.