Tukomawo na buwanguzi 'Khalid Aucho'

KAPUTEENI wa ttiimu ya Cranes omuggya, Khalid Aucho asuubizza Bannayuganda okukomawo n’obuwanguzi mu nsiike gye bagenda okuttunka ne Rwanda e Kigali mu z’okusunsula abalyetaba mu World Cup 2022 e Qatar. 

Tukomawo na buwanguzi 'Khalid Aucho'
By Ismail Mulangwa
Journalists @New Vision
#Ebyemizannyo

Aucho yategeezezza nti ttiimu y’omwaka guno nnungi nnyo kuba ejjuddemu bamusaayimuto abalwanira okwambala omujoozi gw’eggwanga okulaga kye balinawo n’okulwanira ennamba etandika.

Micho Sredejovic ng'awa ebiragiro

Micho Sredejovic ng'awa ebiragiro

“Mpulira essanyu lingi nnyo kuba okuvuganya kw’amanyi nnyo mu ttiimu era bamusaamuto bagenda kukola ekisoboka kyonna okulaba nga bakakasa omutendesi nti basobola okuwangula buli mupiira”. Aucho bwe yategeezezza.

Ttiimu y’eggwanga bataka e Kigali mu wooteri ya Radison Hotel nga beetegekera ensiike y’okulwokuna nga battunka ne Rwanda mu mupiira oguliko obugombe olw’embiranyi.

Khalid Aucho

Khalid Aucho

Micho Sredejovic ku mulundi guno yakoze enkyukakyuka y’abazannyi abazannya emipiira ebiri egyasooka okwali ogwa Kenya ne Mali era yasudde abazannyi bataano okwabadde Joseph Ochaya, Emmanuel Okwi, Murushid Juuko, Milton Karisa ne Khalid Lwalilwa n’abasikiza bamusaayimuto.

Mali y'ekulembedde ekibinja n'obubonero 4,Kenya 2, Uganda 2 ne Rwanda 1.

Timothy Awanyi ku kkono

Timothy Awanyi ku kkono