Bya Ismail Mulangwa
URA FC-Police FC 9:00
SIMEON Masaba omumyuka wa Sam Timbe ku butendesi bwa URA FC alabudde abazannyi be obutakyamukiirira oluvannyuma lw’okumegga Vipers ku Lwomukaaga.
URA FC ettunka ne Police etannawangulayo mupiira gwonna mu liigi ya babinywera eya Startimes Uganda Premier League.
Masaba okwogera bino kiddiridde URA FC okulumba Vipers mu maka gaayo e Kitende ne babamegga 2-0 era n’alabula abazannyi be obutasanyuka nnyo kuba Police gye bazannya tegenda kubabeerera nnyangu naddala ng' eyigga obuwanguzi bwaayo obusooka.
Abadallah Mubiru owa Police agamba nti abazannyi be bali mu mbeera nnungi naddala nga baakamala okufuna akabonero ku Mbarara City wiiki ewedde era n’alabula abazannyi be okulinnyisa omutindo kuba omupiira guno mukulu nnyo.
URA yaakazannya emipiia 5 n’obubonero 15 so nga yo Police yeekwebedde ekimeeza n’akabonero kamu (1) mu mipiira 7.