Masaza Cup: Enkambi ya Bulemeezi bagiyiyeemu ensimbi

Dec 21, 2021

ENKAMBI ya Bulemeezi yeeyongeddemu ebbugumu oluvannyuma lw'abakungu baayo okukyalira abazannyi baabwe mu nkambi ne babayiwamu ssente.

NewVision Reporter
@NewVision

Bya Moses Kigongo 

Masaza Cup

Busiro - Bulemeezi 6:00

ENKAMBI ya Bulemeezi yeeyongeddemu ebbugumu oluvannyuma lw'abakungu baayo okukyalira abazannyi baabwe mu nkambi ne babayiwamu ssente.

Abakungu bano bakulembeddwaamu omubaka wa Nakaseke Central, Allan Mayanja Ssebunya ne basasula abazannyi baabwe ensako ya bukadde 3 (gye babadde babanja  olw'okubeera mu nkambi e Njeru) wamu n'okubongera ebikozesebwa omuli: ebyokulya n'okunywa olwa kye baayise okubazzaamu amaanyi bawangule ensiike yaleero (mwe bagenda okuttunkira ne Busiro) ku quarter finals.

Bano era beeyamye okwongera okuwa abazannyi akasiimo ka ddoola 1,000 ssinga bayitawo ku semi ez'omulundi guno.

Bulemeezi yaakuttunka ne Busiro ku ssaawa 6:00 ez'emisana mu gumu ku mupiira ogusuubirwa okubeeramu ebbugumu olwa buli ludda okubeera n'ababaka ba palamenti abaziteekamu ensimbi.

Ttiimu ya Busiro evujjirirwa  omubaka wa Busiro North Paul  Nsubuga, ate Bulemeezi evujjirirwa ababaka okuli; Allan Ssebunya, Sarah Najjuma ne Brenda Nabukenya (owa Luweero).

 



Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});